Eby'Abaleevi 12
12
1Mukama n'agamba Musa nti 2#Leev 15:19, Luk 2:22Gamba abaana ba Isiraeri nti Omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, kale omukazi oyo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye, bw'atyo bw'anaabanga atali mulongoofu. 3#Lub 17:12, Luk 1:59; 2:21Awo ku lunaku olw'omunaana omubiri gw'ekikuta kye gunaakomolwanga. 4Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe; takomanga ku kintu ekitukuvu, so tayingiranga mu kifo ekitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe lwe ziriggwa. 5Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, kale anaabanga atali mulongoofu ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe. 6#Luk 2:22Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga, ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga omwana gw'endiga ogw'omwaka ogw'olubereberye okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona: 7kale anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka ly'omukazi azaala, oba wa bulenzi oba wa buwala. 8#Leev 4:26; 5:7, Luk 2:24Era mu bintu bye bw'ataayinzenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaatwalanga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi: era kabona anaamutangiriranga, era anaabanga mulongoofu.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 12: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.