YouVersion Logo
Search Icon

Yoswa 24

24
1 # Yos 23:2 Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne beeraga mu maaso ga Katonda. 2#Lub 11:27-32; 31:30; 35:2Yoswa n'agamba abantu bonna nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Bajjajjammwe baabeera mu biro eby'edda emitala w'Omugga, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli: ne baweereza bakatonda abalala. 3#Lub 12:1-6; 21:2,3, Bik 7:2-4Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne nnyongera ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka. 4#Lub 25:24-26; 36:8; 46:6, Ma 2:5Ne mpa Isaaka Yakobo ne Esawu: ne mpa Esawu olusozi Seyiri, okululya; Yakobo n'abaana be ne baserengeta mu Misiri. 5#Kuv 3:10; 4:14; 7:3; 12:29,51Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo: oluvannyuma ne mbaggyamu. 6#Kuv 14:2,9Ne bajjajjammwe ne mbaggya mu Misiri: ne mutuuka ku nnyanja; n'Abamisiri ne bagoberera bajjajjammwe n'amagaali n'abeebagadde embalaasi ku Nnyanja Emmyufu. 7#Kuv 14:10,20,27,28, Ma 2:7,14; 4:34; 29:2, Yos 5:6Bwe baamukoowoola Mukama, n'assaawo ekizikiza wakati wammwe n'Abamisiri, n'abaleetako ennyanja, n'abasaanikira; n'amaaso gammwe gaalaba bye nnakola mu Misiri: nammwe ne mumala ennaku nnyingi mu ddungu. 8#Kubal 21:21-35Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani; ne balwana nammwe: ne mbawa mu mukono gwammwe, n'ensi yaabwe ne mugirya; ne mbazikiriza mu maaso gammwe. 9#Kubal 22:5, Ma 23:4, Balam 11:25, Mi 6:5Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n'ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira: 10#Kubal 23:11,20; 24:1,10naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate: bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwe. 11#Yos 3:17; 4:10-13; 6:1; 11:1-3Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko: n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbawa mu mukono gwammwe. 12#Kuv 23:28, Ma 7:20, Zab 44:3Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, n'ebagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo. 13#Ma 6:10,11Ne mbawa ensi gy'otaakolera mirimu, n'ebibuga bye mutaazimba, ne mubibeeramu; ensuku ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni ze mutaasimba ze mulyako. 14#Ma 10:12, Yos 24:2,23, 1 Sam 12:24, Ez 20:7Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa: era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama. 15#Kuv 23:24,32,33, Ma 13:7; 29:18, Yos 24:2, Balam 6:10, 1 Bassek 18:21, Ez 20:39Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli: naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama. 16Abantu ne baddamu ne bagamba nti Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala; 17#Kuv 20:2kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati: 18Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi: era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe. 19#Kuv 20:5; 23:21, Leev 19:2, Ma 4:24; 6:15, 1 Sam 6:20, Zab 99:5,9, Is 5:16; 6:3, Nak 1:2Yoswa n'agamba abantu nti Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutuukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe. 20#Yos 23:15, 2 Byom 15:2, Ezer 8:22, Is 1:28; 63:10; 65:11,12, Yer 17:13, Yos 19:50Oba nga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abaggya, n'alyoka akyuka n'abakola obubi, n'abazikiriza, ng'amaze okubakola obulungi. 21Abantu ne bagamba Yoswa nti Nedda; naye tunaaweerezanga Mukama. 22#Yos 24:15Yoswa n'agamba abantu nti Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga. Ne boogera nti Tuli bajulirwa. 23#Yos 24:14, Balam 10:16, 1 Sam 7:3Kale kaakano muggyeewo bakatonda abaggya abali mu mmwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama, Katonda wa Isiraeri. 24Abantu ne bagamba Yoswa nti Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga, n'eddoboozi lye tunaaliwuliranga. 25#2 Bassek 11:17, 2 Byom 23:16Bw'atyo Yoswa n'alagaana endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera etteeka n'ekiragiro mu Sekemu.
26 # Lub 12:6; 28:18; 35:4, Ma 31:24, Balam 9:6 Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali ku kifo ekitukuvu ekya Mukama. 27#Lub 31:48,52, Yos 22:27,28,34Yoswa n'agamba abantu bonna nti Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gye tuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye: kyelinaavanga libeera mujulirwa gye tuli, muleme okwegaana Katonda wammwe. 28#Balam 2:6Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli muntu agende mu butaka bwe.
29 # Balam 2:7-9 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'amaze emyaka kikumi mu kkumi. 30#Yos 19:50Ne bamuziika mu nsalo ey'obutaka bwe mu Timunasusera, ekiri mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'olusozi Gaasi. 31Abaisiraeri ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaasigalawo Yoswa ng'amaze okufa, era abaamanya emirimu gyonna egya Mukama, gye yakolera Isiraeri. 32#Lub 33:19; 50:25, Kuv 13:19, Bik 7:16N'amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baggya mu Misiri ne bajja nago, ne bagaziika mu Sekemu, mu kitundu eky'ensi, Yakobo kye yagula eri batabani ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ebitundu ebya ffeeza kikumi: ne gaba obusika obw'abaana ba Yusufu. 33#Yos 22:13Eriyazaali omwana wa Alooni n'afa; ne bamuziika ku lusozi lwa Finekaasi omwana we, lwe yaweebwa mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu.

Currently Selected:

Yoswa 24: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy