YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 7

7
1 # Yob 14:14 Abantu tebalina lutalo ku nsi?
N'ennaku zaabwe tezifaanana nnaku z'oyo akolera empeera?
2 # Leev 19:13, Yob 14:6 Ng'omuddu ayaayaanira ennyo ekisiikirize,
Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye:
3 # Yob 7:16; 30:17 Bwe ntyo nange bwe mmazibwa emyezi egitaliiko kye gigasa,
N'ebiseera eby'ekiro ebinkooya byanteekerwawo.
4 # Ma 28:67 Bwe ngalamira ne njogera nti
Naayimuka ddi? naye ekiro kirwawo;
Era nsula nneekubiira okukeesa obudde.
5 # Yob 2:7,8 Omubiri gwange gwambadde envunyu n'amafunfugu;
Eddiba lyange liziba ne litulika nate.
6 # Yob 9:25 Ennaku zange ziwulukuka mangu okusinga obutanta bw'omulusi w'engoye,
Era ziggwaawo awatali ssuubi.
7 # Zab 78:39 Woowe, jjukira ng'obulamu bwange mpewo:
Amaaso gange tegakyalaba nate birungi.
8 # Yob 7:21; 20:9 Eriiso ly'oyo andaba terikyandaba nate:
Amaaso go galiba ku nze, naye nga siriiwo.
9 # Yob 21:13; 30:15 Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula,
Bw'atyo n'oyo akka mu magombe taalinnyenga kuvaayo.
10 # 2 Sam 12:23, Yob 8:18; 10:21, Zab 103:16 Taddenga nate mu nnyumba ye,
So n'ekifo kye tekiimumanyenga nate.
11 # 1 Sam 1:10, Yob 10:1; 3:20; 21:4, Is 38:15 Kyennaava nnema okuziyiza akamwa kange;
Naayogeza obubalagaze bw'omwoyo gwange;
Neemulugunyisa obuyinike bw'emmeeme yange.
12Nze nnyanja, oba lukwata,
N'okussaako n'onzisaako abankuuma?
13 # Yob 9:27 Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa,
Ekiriri kyange kinaawummuza okwemulugunya kwange;
14Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto,
N'onkanga n'okwolesebwa:
15 # Yob 19:20; 30:17 Emmeeme yange n'okweroboza ne yeeroboza okutugibwa,
N'okufa okusinga amagumba gange gano.
16 # Yob 9:21; 10:1,20, Zab 39:13 Ntamiddwa obulamu bwange; saagala kuba mulamu ennaku zonna:
Ndeka; kubanga ennaku zange teziriimu.
17 # Zab 8:4; 144:3, Beb 2:6 Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza,
Era ggwe okumussaako omwoyo gwo.
18 # Zab 11:4,5; 17:3 N'okumujjira buli nkya,
N'okumukema buli kaseera?
19 # Yob 14:6 Olituusa wa obutanziyangako maaso,
N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange?
20 # Yob 16:12, Is 27:3, Kung 3:12 Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu?
Kiki ekyakunteesaawo okuba sabbaawa gy'oli,
N'okuzitowa ne nneezitoowerera nze nzekka?
21 # Yob 7:8, Dan 12:2 Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano naagalamira mu nfuufu;
Naawe olinnoonyeza ddala, naye nze nga siriiwo.

Currently Selected:

Yobu 7: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in