Yobu 4
4
1Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti
2Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga?
Naye ani ayinza okuzibiikiriza obutayogera?
3 #
Is 35:3, Beb 12:12 Laba, wayigirizanga bangi,
Era wanywezanga emikono eminafu.
4Ebigambo byo byamuwaniriranga oyo eyali agudde,
Era wawanga amaanyi amaviivi agaddirira.
5Naye kaakano kituuse gy'oli n'ozirika;
Kikukomako ne weeraliikirira.
6 #
Yob 1:1; 31:24 Okutya kwo Katonda si bwe bwesige bwo,
N'amakubo go amagolokofu si kwe kusuubira kwo?
7 #
Zab 37:25
Nkwegayiridde, jjukira, ani eyali abuze nga taliiko musango?
Oba abatuukirivu baali bamaliddwawo wa?
8 #
Nge 22:8, Kos 10:13, Bag 6:7,8 Nga bwe nnalaba, abo abakabala obujeemu,
Ne basiga obuyinike, era bye bakungula.
9 #
Kuv 15:8, Zab 18:15, Is 11:4; 30:33, 2 Bas 2:8 Bazikirira olw'omukka gwa Katonda,
Era bamalibwawo olw'okuwuuma kw'obusungu bwe.
10 #
Zab 58:6
Okuwuluguma kw'empologoma n'eddoboozi ly'empologoma enkambwe,
N'amannyo g'empologoma ento gamenyeka.
11Empologoma enkulu efa omuyiggo nga gugibuze,
N'abaana b'empologoma ne basaasaana.
12 #
Yob 26:14
Kale ekigambo kyandeeterwa kyama,
N'okutu kwange ne kutoola okuwuuma kwakyo.
13 #
Lub 15:12, 1 Sam 26:12, Yob 33:15, Is 29:10 Mu kulowooza okuva mu kwolesebwa okw'ekiro,
Otulo otungi bwe tukwata abantu,
14Entiisa n'enkwata n'okukankana,
Amagumba gange gonna n'okunyegenya ne ganyegenya.
15Awo omwoyo ne guyita ku maaso gange;
Enviiri ez'omubiri gwange ne zinva ku mutwe.
16 #
Kubal 12:8, 1 Bassek 19:12, Zab 17:15 Gwayimirira buyimirizi, naye ne siyinza kwetegereza bwe gufaanana;
Ekifaananyi kyali mu maaso gange:
Waaliwo okusirika, ne mpulira eddoboozi eryogera nti
17 #
Yob 9:2; 25:4; 32:2, Bar 3:4 Omuntu afa alisinga Katonda obutuukirivu?
Omuntu aliba mulongoofu okukira eyamukola?
18 #
Yob 15:15
Laba, teyeesiga baddu be;
Ne bamalayika be abalanga obusirusiru:
19 #
Yob 10:9; 13:28; 33:6, Is 64:8, 2 Kol 4:7; 5:1 Talisinga nnyo kubanga abo abasula mu nnyumba ez'ettala,
Omusingi gwabwe guli mu nfuufu,
Ababetentebwa okusooka ekiwojjolo!
20 #
Zab 90:5,6, Is 38:12; 57:1 Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi:
Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo.
21 #
Yob 36:12, Nge 5:23; 10:21, Kos 4:6 Omugwa gwabwe ogw'eweema tegusimbulwa munda yaabwe?
Bafa, era awatali magezi.
Currently Selected:
Yobu 4: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.