YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 1

1
1 # 1 Yok 1:1,2, Yok 17:5, Kub 19:13 Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. 2#Nge 8:22Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda. 3#Bak 1:16,17, Beb 1:2Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa. 4#Yok 5:26Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu. 5#Yok 3:19Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera. 6#Luk 1:13-17,57-80, Mat 3:1, Mak 1:4Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana. 7#Luk 3:3Oyo yajja olw'okutegeeza ategeeze eby'omusana, bonna bakkirize ku bubwe. 8#Yok 1:20Oyo si ye musana, wabula okutegeeza eby'omusana. 9Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi. 10#Yok 1:3-5Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera. 11Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza. 12#Bag 3:26Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye: 13#Yok 3:5,6abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda. 14#Is 7:14, 2 Peet 1:16,17, Is 60:1, Luk 9:32Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima. 15#Yok 1:27,30, Mat 3:11Yokaana n'amutegeeza n'ayogerera waggulu ng'ayogera nti Oyo gwe nnagamba nti Ajja ennyuma wange ansinga nze: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze. 16#Yok 3:34, Bak 1:19Kubanga ku kujjula kwe ffe fenna kwe twaweebwa, n'ekisa mu kifo ky'ekisa. 17#Bar 6:14; 10:4, Kuv 34:6, Zab 25:10; 40:10; 85:10Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo. 18#Yok 6:46, 1 Yok 4:12, Mat 11:27, Luk 10:22, 1 Tim 6:16Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe oyo yamutegeeza.
19 # Luk 3:15,16,20, Bik 13:25 Kuno kwe kutegeeza kwa Yokaana, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti Ggwe ani? 20N'ayatula, n'ateegaana; n'ayatula nti Si nze Kristo. 21#Mat 17:10, Ma 18:15, Yok 6:14; 7:40Ne bamubuuza nti Kale lw'oli ani? oli Eriya? N'agamba nti Si nze ye. Ggwe nnabbi oli? N'addamu nti Nedda. 22Awo ne bamugamba nti Lw'oli ani? tubaddemu abatutumye. Weeyita ani? 23#Is 40:3, Mat 3:3, Mak 1:3, Luk 3:4N'agamba nti Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera. 24Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo. 25#Mat 21:25Ne bamubuuza, ne bamugamba nti Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa? 26#Mat 3:11, Mak 1:7,8Yokaana n'abaddamu, ng'agamba nti Nze mbatiza n'amazzi: wakati mu mmwe ayimiridde omuntu gwe mutamanyi, 27#Yok 3:26, Bik 13:25ajja ennyuma wange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye. 28#Mat 3:6,13Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga.
29 # Yok 1:36, Is 53:7 Olunaku olw'okubiri n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi! 30#Yok 1:15,27oyo gwe nnagamba nti Ennyuma wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze. 31Nange saamumanya: naye ayolesebwe Isiraeri, kyennava njija nga mbatiza n'amazzi. 32#Mat 3:16, Mak 1:10, Luk 3:22Yokaana n'ategeeza ng'agamba nti Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye. 33#Luk 3:2, Mat 3:16Nange saamumanya: naye eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti Ggwe oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu. 34#Mat 3:17Nange ne ndaba, ne ntegeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.
35Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n'ab'oku bayigirizwa be babiri; 36#Yok 1:29, Is 53:7n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda! 37Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu. 38Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti Munoonya ki? Ne bamugamba nti Labbi (amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Omuyigiriza), osula wa? 39N'abagamba nti Mujje, munaalabawo. Ne bajja ne balaba w'asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi. 40#Mat 4:18-22Andereya, muganda wa Simooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng'ayogera, ne bamugoberera. 41#1 Sam 2:10, Zab 2:2Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti Tulabye Kristo, amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Eyafukibwako amafuta. 42#Mat 16:18, Mak 3:16N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa, (amakulu gaalyo bwe litegeezebwa nti Peetero).
43 # Mat 8:22, Mak 2:14 Olunaku olwaddako yayagala okuvaayo okugenda e Ggaliraaya, n'alaba Firipo: Yesu n'amugamba nti Ngoberera. 44Naye Firipo yali w'e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero. 45#Ma 18:18, Is 7:14; 53:2, Yer 23:5, Ez 34:23Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi. 46#Yok 7:41,52Nassanayiri n'amugamba nti Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi? Firipo n'amugamba nti Jjangu olabe. 47#Zab 32:2; 73:1, Lub 25:27Yesu n'alaba Nassanayiri ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa! 48Nassanayiri n'amugamba nti Wantegeerera wa? Yesu n'addamu n'amugamba nti Firipo bw'abadde tannakuyita, bw'obadde mu mutiini, ne nkulaba. 49#2 Sam 7:14, Yok 6:69, Zab 2:7, Mat 14:33; 16:16Nassanayiri n'amuddamu nti Labbi, ggwe Mwana wa Katonda: ggwe Kabaka wa Isiraeri. 50Yesu n'addamu n'amugamba nti Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? oliraba ebikulu okukira ebyo. 51#Lub 28:12, Mat 4:11, Mak 1:13N'amugamba nti Ddala ddala mbagamba nti Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu.

Currently Selected:

Yokaana 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy