YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 2

2
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 2#Ma 2:7, Ez 16:8,43,60, Kub 2:4nti Genda oyogerere waggulu mu matu ga Yerusaalemi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkujjuukirira ku kisa eky'omu buto bwo, okwagala okw'okwogerezebwa kwo; bwe wangoberera mu ddungu mu nsi etaalimu bisige. 3#Kuv 28:36, Yer 12:14, Yak 1:18Isiraeri yali butukuvu eri Mukama, ebibala ebibereberye eby'oku kyengera kye: bonna abamulya baliyitibwa abazzizza omusango: obubi bulibatuukako, bw'ayogera Mukama.
4Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe ennyumba ya Yakobo, n'ebika byonna eby'ennyumba ya Isiraeri: 5#2 Bassek 17:15, Is 5:4, Yer 18:15, Mi 6:3Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Butali butuukirivu ki bajjajjammwe bwe baalaba mu nze n'okugenda bagenze wala okunvaako, ne batambula okugoberera obutaliimu ne bafuuka abataliimu? 6#Ma 8:15; 32:10, Is 63:11-13So tebayogera nti Mukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey'amalungu n'obunnya, mu nsi ey'ennyonta n'ey'ekisiikirize eky'okufa, mu nsi omuntu yenna gy'atayitamu, so n'omuntu yenna mw'atabeera? 7#Leev 18:24,25, Ma 8:7-10, Zab 106:38Ne mbaleeta mu nsi ey'ekyengera, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu; naye bwe mwayingira ne mwonoona ensi yange, ne mufuula obusika bwange okuba omuzizo. 8Bakabona tebayogera nti Mukama ali ludda wa? n'abo abatogaatoga amateeka tebammanya: era n'abakungu ne bansobya, bannabbi ne balagula ku lwa Baali ne batambula nga bagoberera ebitaliiko kye bigasa. 9#Ez 17:20Kyennaava neeyongera okuwoza nammwe, bw'ayogera Mukama, era ndiwoza n'abaana b'abaana bammwe. 10Kubanga muwunguke mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe; mutume e Kedali, mwetegereze nnyo; mulabe oba nga waali wabaddewo ekigambo ekyenkana awo. 11#Zab 106:20, Is 37:19, Yer 16:20, Bag 4:8Waliwo eggwanga eryawaanyisa bakatonda baabwe, abatali bakatonda naye? naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe olw'ekyo ekitaliiko kye kigasa. 12#Is 1:2Samaaliririra ekyo, ggwe eggulu, otye ekitatiika, owuubaale nnyo, bw'ayogera Mukama. 13#Zab 36:9, Yer 17:13, Yok 4:10Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri; bandese nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ttanka z'omu ttaka, ebitayinza kubaamu mazzi. 14#Kuv 4:22Isiraeri muddu? muddu eyazaalibwa mu nnyumba? kiki ekimufudde omuyiggo? 15#Is 19:13, Yer 43:7-9; 44:1Empologoma ento zimuwulugumiddeko ne zivuuma: ne zizisa ensi ye; ebibuga bye byokereddwa ddala awatali abituulamu. 16Era abaana ba Noofu ne Tapanesi bamenye obwezinge bwo. 17#Yer 4:18Teweereeseeko ekyo kubanga olese Mukama Katonda wo, bwe yakuluŋŋamiza mu kkubo? 18#Is 8:7; 23:3; 30:1,2, Yer 2:36, Kos 7:11Kale nno ofaayo ki mu kkubo erigenda e Misiri okunywa amazzi ga Sikoli? oba ofaayo ki mu kkubo erigenda e Bwasuli, okunywa amazzi ag'Omugga? 19#Is 3:9, Yer 3:22; 5:6; 14:7, Kos 5:5Obubi bwo ggwe bulikubuulirira, n'okuseeseetuka kwo kulikunenya: kale manya olabe nga kigambo kibi era kya bubalagaze, kubanga olese Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye. 20#Is 1:21; 57:5, Yer 3:2; 17:2; 30:8Kubanga obw'edda namenya ekikoligo kyo, ne nkutula ebisiba byo; n'oyogera nti Sijja kuweereza; kubanga wakutama ku buli lusozi oluwamvu ne wansi wa buli muti omubisi nga weefuula omwenzi. 21#Zab 80:8, Is 5:2Era naye nali nkusimbye muzabbibu mulungi, ensigo ey'amazima ameereere: kale ofuuse otya gye ndi omuti ogwayonooneka ogw'omuzabbibu ogw'omu kibira? 22#Yob 9:30, Yer 17:1Kubanga newakubadde ng'onaaba n'oluvu n'okozesa ne sabbuuni mungi, naye obutali butuukirivu bwo bulambiddwa mu maaso gange, bw'ayogera Mukama Katonda. 23#Yer 7:31,32Oyinza otya okwogera nti Soonoonese, siigobereranga Babaali? laba ekkubo lyo mu kiwonvu, otegeere bye wakola; oli ŋŋamira ya mbiro ng'eyitaayita mu makubo gaayo; 24#Yer 14:6entulege eyamanyiira amalungu ekonga empewo nga yeegomba; mu kiseera kyayo ani ayinza okugikyusa? zonna eziginoonya teziryekooya; zinaagirabira mu mwezi gwayo. 25#Ma 29:5, Yer 3:13Ziyiza ekigere kyo oleme okuba atalina ngatto, n'omumiro gwo oleme okulakasira ennyonta; naye n'oyogera nti Tewali ssuubi: nedda; kubanga njagadde bannaggwanga, era be ndigoberera. 26#Yer 32:32Omubbi nga bw'akwatibwa ensonyi bw'alabika, n'ennyumba ya Isiraeri bw'ekwatibwa ensonyi bw'eri; bo ne bakabaka baabwe n'abakulu baabwe ne bakabona ne bannabbi baabwe; 27#Balam 10:9,10, Is 26:16abagamba ekikonge nti Ggwe kitange; n'ejjinja nti Ggwe onzaala: kubanga bankubye amabega so si maaso gaabwe: naye mu biro mwe balirabira ennaku balyogera nti Golokoka otulokole. 28#Ma 32:37,38, Is 45:20, Yer 11:13Naye bakatonda bo be weekoledde bali ludda wa? bo bagolokoke oba nga bayinza okukulokola mu biro mw'olabira ennaku: kubanga ebibuga byo nga bwe byenkana, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ggwe Yuda.
29Kiki ekibaagaza okuwoza nange? mwenna munsobezza, bw'ayogera Mukama. 30#Yer 5:3Abaana bammwe mbakubidde bwereere; tebaganyizza kubuulirirwa: ekitala kyammwe mmwe kimazeewo bannabbi bammwe ng'empologoma ezikiriza. 31Mmwe ab'omu mirembe gino, mulabe ekigambo kya Mukama. Naabanga ddungu eri Isiraeri? oba nsi ya kizikiza ekikutte? abantu bange ekiboogeza ki nti Tutaaluuse; tetukyajja gy'oli nate? 32#Ma 32:18, Zab 106:21, Is 61:10, Kos 8:14Omuwala ayinza okwerabira ebibye eby'obuyonjo, oba omugole ebyambalo bye? naye abantu bange banneerabidde ennaku nnyingi ezitabalika. 33Ng'olongoosa ekkubo lyo okunoonya okwagalibwa! kyovudde oyigiriza n'abakazi ababi amakubo go. 34#Kuv 22:2, 2 Bassek 21:16, Zab 106:38Era ku birenge byo kulabise omusaayi gw'emmeeme z'abaavu abataliiko musango: sigulabye mu kituli ekisimibwa wabula ku bino byonna. 35#Zab 143:2, Nge 28:13, 1 Yok 1:8,10Era naye n'oyogera nti Siriiko musango; mazima obusungu bwe bukyuse okunvaako. Laba, ndiwoza naawe kubanga oyogera nti Soonoonanga. 36#Is 30:3, Yer 31:22Otambuliratambulira ki ennyo bw'otyo okuwaanyisa ekkubo lyo? era olikwatibwa ensonyi ne ku lwa Misiri, nga bwe wakwatibwa ensonyi ku lwa Bwasuli. 37#2 Sam 13:19Era ne gy'ali alivaayo nga weetisse emikono: kubanga Mukama agaanyi ebyo bye weesiga, so toliraba mukisa mu byo.

Currently Selected:

Yeremiya 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy