Ekyabalamuzi 2
2
1 #
Balam 6:7-10, Lub 17:7, Kuv 6:4, Ma 6:21-23; 31:16 Ne malayika wa Mukama n'ava e Girugaali n'ayambuka e Bokimu. N'ayogera nti Nabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe; ne njogera nti Sirireka ndagaano yange (gye nnalagaana) nammwe: 2#Ma 7:2; 12:3nammwe temulagaananga ndagaano n'abo abatuula mu nsi muno; mumenyemenyenga ebyoto byabwe: naye mmwe temuwulidde doboozi lyange: kiki ekibakozesa bwe mutyo? 3#Kubal 33:55, Yos 23:13Nange kyennava njogera nti Siibagobenga mu maaso gammwe; naye banaabanga ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, ne bakatonda baabwe banaabanga kyambika gye muli. 4Awo olwatuuka malayika wa Mukama bwe yabuulira ebigambo ebyo abaana ba Isiraeri, abantu ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga. 5Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu: ne baweera eyo ssaddaaka eri Mukama.
6 #
Yos 24:28-31
Awo Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, abaana ba Isiraeri ne bagenda buli muntu mu busika bwe okulya ensi. 7Abantu ne baweerezanga Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna ogwa Mukama omunene gwe yakolera Isiraeri. 8Yoswa omwana wa Nuni, omuddu wa Mukama, n'afa, nga yaakamaze emyaka kikumi mu kkumi. 9Ne bamuziika mu nsalo y'obusika bwe mu Timunasukeresi, mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ku bukiika obwa kkono obw'olusozi Gaasi. 10Era n'ab'emirembe egyo bonna ne bakuŋŋaanyizibwa eri bajjajjaabwe: ne wabaawo emirembe emirala egibaddirira, abataamanya Mukama, newakubadde omulimu gwe yakolera Isiraeri.
11 #
Balam 3:7; 6:1; 10:6; 13:1 Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne baweereza Babaali: 12#Kuv 20:5, Ma 6:14; 31:16,29Mukama ne bamuvaako, Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, ku bakatonda ab'amawanga agabeetooloola, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama. 13#Balam 10:6, 1 Sam 7:4, Zab 106:36Mukama ne bamuvaako, ne baweereza Baali ne Asutaloosi. 14#Leev 26:37, Yos 7:12,13, 1 Sam 12:9, 2 Bassek 17:20Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abagabula mu mikono gy'abanyazi abaabanyaga, n'abatunda mu mikono gy'abalabe baabwe okwetooloola, n'okuyinza ne batayinza nate kuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe. 15#Leev 26:14-45, Ma 28:15-68, Am 9:4Gye baatabaalanga yonna, omukono gwa Mukama ne gubaleeteranga akabi, nga Mukama bwe yayogera, era nga Mukama bwe yabalayirira: ne beeraliikirira nnyo. 16#Balam 3:9,15; 10:1,12; 13:5, 1 Sam 12:11, Nek 9:27, Bik 13:20Mukama n'ayimusa abalamuzi abaabalokolanga mu mukono gwabo abaabanyaganga, 17#Kuv 34:15, Ma 9:12, Balam 8:33Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga baagenda nga bayenda nga bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira; baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; bo tebaakola bwe batyo. 18#Kuv 2:24; 6:5, Ma 32:36, Zab 106:45, Yer 18:8; 26:3Era Mukama bwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi, n'abalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe ennaku zonna ez'omulamuzi: kubanga Mukama ne yejjusa olw'okusinda kwabwe olw'abo abaabajooganga ne babeeraliikiriza. 19#Balam 4:1; 8:33Naye olwatuuka, omulamuzi bwe yamalanga okufa, ne baddanga ennyuma, ne bakola obubi okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe so tebaalekanga kkubo lyabwe kkakanyavu. 20#Yos 23:16Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri: n'ayogera nti Kubanga eggwanga lino lisobezza ku ndagaano gye nnalagira bajjajjaabwe, so tebawulidde ddoboozi lyange; 21#Yos 23:13, Balam 2:3nange okusooka leero kyennaavanga nnema okugoba mu maaso gaabwe ku mawanga Yoswa ge yafissaawo bwe yafa: 22#Ma 8:2,16; 13:3ndyoke nkeme Isiraeri olw'abo oba nga banaakwatanga ekkubo lya Mukama okulitambulirangamu, nga bajjajjaabwe bwe baalikwata, nantiki si weewaawo. 23Awo Mukama n'aleka amawanga gali, obutabagoba mangu; so teyabagabula mu mukono gwa Yoswa.
Currently Selected:
Ekyabalamuzi 2: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.