Ekyabalamuzi 10
10
1Awo oluvannyuma lwa Abimereki ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, mutabani wa Dodo, omusajja wa Isakaali, okulokola Isiraeri; n'abeera mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi. 2N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu esatu, n'afa, ne bamuziika mu Samiri.
3Oluvannyuma lw'oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi; n'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu ebiri. 4#Ma 3:14, Balam 12:14Era yalina batabani be asatu, abeebagalanga abaana b'endogoyi asatu, nabo baalina ebibuga asatu, bye bayita Kavosuyayiri okutuusa leero, ebiri mu nsi ya Gireyaadi. 5Yayiri n'afa ne bamuziika mu Kamoni.
6 #
Balam 2:11,13, 1 Bassek 11:5,7,33, 2 Bassek 23:13 Abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne baweereza Babaali, ne Asutaloosi ne bakatonda ab'e Busuuli, ne bakatonda ab'e Sidoni, ne bakatonda ba Mowaabu, ne bakatonda ab'abaana ba Amoni, ne bakatonda ab'Abafirisuuti; Mukama ne bamuvaako ne batamuweereza. 7#Balam 2:14Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatunda mu mukono gw'Abafirisuuti, ne mu mukono gw'abaana ba Amoni. 8Ne beeraliikiriza ne bajooga abaana ba Isiraeri omwaka ogwo: (baajoogera) emyaka kkumi na munaana abaana ba Isiraeri bonna abaali emitala wa Yoludaani mu nsi y'Abamoli eri mu Gireyaadi. 9Abaana ba Amoni ne basomoka Yoludaani okulwanyisa ne Yuda ne Benyamini n'ennyumba ya Efulayimu; n'okweraliikirira Isiraeri ne yeeraliikirira nnyo. 10#Balam 3:9Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama nga boogera nti Twakusobya kubanga twava ku Katonda waffe ne tuweereza Babaali. 11#Kuv 14:30, Kubal 21:21-32, Balam 3:31Mukama n'agamba abaana ba Isiraeri nti Saabalokola eri Abamisiri n'eri Abamoli, eri abaana ba Amoni n'eri Abafirisuuti? 12#Balam 2:16; 6:3Era ne Basidoni n'Abamaleki n'Abamawoni baabajooga; ne munkaabira ne mbalokola mu mukono gwabwe. 13#Ma 32:15, Balam 10:6,7, Yer 2:13Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala: kyenva nnema okugenda okubalokola nate. 14#Ma 32:37,38, 1 Bassek 18:27Mugende mukaabire bakatonda be mwalonda; bo babalokolenga mu biro eby'okunakuwala kwammwe. 15Abaana ba Isiraeri ne bagamba Mukama nti Twayonoona: tukole kyonna ky'onoolaba nga kirungi: kyokka tuwonye leero, tukwegayiridde. 16#Yos 24:23, Balam 2:18, Is 63:9Ne baggya mu bo bakatonda abaggya ne baweereza Mukama: omwoyo gwe ne gumuluma olw'ennaku za Isiraeri.
17 #
Balam 11:11,34 Awo abaana ba Amoni ne balyoka bakuŋŋaana ne basiisira mu Gireyaadi. Abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu Mizupa. 18#Balam 11:5,6,8,11Abantu, abakulu ab'e Gireyaadi, ne bagambagana nti Omusajja aluwa alisooka okulwanyisa abaana ba Amoni? oyo ye aliba omukulu w'abo bonna abatuula mu Gireyaadi.
Currently Selected:
Ekyabalamuzi 10: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.