Koseya 13
13
1Efulayimu bwe yayogera, ne wabaawo okukankana; yeegulumiza mu Isiraeri: naye bwe yayonoona olwa Baali, n'afa. 2#1 Bassek 19:18, Is 40:19,20, Zab 115:4Awo kaakano beeyongerayongera okwonoona, era beekoledde ebifaananyi ebisaanuuse ne ffeeza yaabwe, esanamu ng'amagezi gaabwe bo bwe gali, zonna mulimu gwa mukozi: bazoogerako nti Abasajja abasala ssaddaaka banywegere ennyana. 3#Zab 1:4; 68:2, Kos 6:4Kyebaliva babeera ng'ekire eky'enkya, era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali, ng'ebisusunku embuyaga ez'akazimu bye zitwala okubiggya mu gguuliro, era ng'omukka oguva mu kituli ogufuluma. 4#Kuv 20:3, Is 43:11; 45:21Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wazira nze. 5#Ma 2:7Nakumanyira mu ddungu, mu nsi ey'ennyonta ennyingi. 6#Ma 8:12-14, Kos 4:7Ng'eddundiro lyabwe bwe lyabanga, bwe bakkutanga bwe batyo; bakkuta, omutina gwabwe ne gwegulumiza; kyebavudde banneerabira nze. 7#Yer 5:6, Kos 5:14Kyenvudde mbeera gye bali ng'empologoma: ng'engo nditeegera mu kkubo: 8#2 Sam 17:8ndisisinkana nabo ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza olubiko olw'oku mutima gwabwe: era ndibaliira eyo ng'empologoma; ensolo ey'omu nsiko eribataagula. 9#Ma 33:26Kwe kuzikirira kwo, ai Isiraeri, kubanga oli mulabe wange, omulabe w'omubeezi wo. 10#1 Sam 8:5,19, Kos 8:4Kabaka wo nno ali ludda wa, akulokole mu bibuga byo byonna? n'abalamuzi bo be wayogerako nti Mpa kabaka n'abakungu? 11#1 Sam 8:22Nkuwadde kabaka nga ndiko obusungu, era mmuggyeewo nga ndiko ekiruyi. 12#Yob 14:17Obutali butuukirivu bwa Efulayimu busibiddwa; ekibi kye kiterekeddwa. 13#2 Bassek 19:3, Is 13:8Obubalagaze bw'omukazi alumwa okuzaala bulimutuukako: ye mwana atalina magezi; kubanga ekiseera kituuse aleme okulwa mu kifo omuyita abaana nga bazaalibwa. 14#Is 25:8; 26:19, Ez 9:10; 37:12, 1 Kol 15:55Ndibanunula eri amaanyi ag'amagombe; ndibagula okuva eri okufa: ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? okwenenya kulikwekebwa amaaso gange. 15#Lub 41:52, Ez 17:10; 19:12Newakubadde ng'alina ebibala bingi mu baganda be, embuyaga ez'ebuvanjuba zirijja, omukka gwa Mukama ogulinnya okuva mu ddungu, oluzzi lwe ne lukalira, ensulo ye n'eggwaawo: alinyaga ebibya byonna ebisanyusa ebyaterekebwa. 16#2 Bassek 8:12; 18:12, Kos 9:12; 10:14Samaliya alibaako omusango gwe; kubanga ajeemedde Katonda we: baligwa n'ekitala; abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n'abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.
Currently Selected:
Koseya 13: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.