Bible App logo
Search Icon

Koseya 10

10
1 # Ma 16:22, Zab 80:8-11 Isiraeri muzabbibu ogwera oguleeta ebibala byagwo: ng'ebibala bye bwe byali ebingi, bw'atyo bw'ayongedde ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, empagi ze baakola bwe zaabanga ennungi bwe zityo. 2Omutima gwabwe gwawukanyeemu; kaakano banaalabika omusango nga gubasinze: alikuba ebyoto byabwe, alinyaga empagi zaabwe. 3#1 Sam 12:12Mazima kaakano banaayogera nti Tetulina kabaka: kubanga tetutya Mukama; ne kabaka ayinza kutukolera ki? 4Boogera ebigambo obugambo, nga balayira eby'obulimba mu kulagaana endagaano: omusango kyeguva gumerera mu mbibiro z'ennimiro ng'omususa. 5#1 Sam 4:21,22, 1 Bassek 12:28Abali mu Samaliya entiisa eribakwata olw'ennyana ez'e Besaveni: kubanga abantu baakyo balikiwuubaalira, ne bakabona baakyo abaakisanyukira, baliwuubaalira ekitiibwa kyakyo, kubanga kikivuddeko. 6#Kos 5:13Era nakyo kiritwalibwa e Bwasuli okuba ekirabo kya kabaka Yalebu: Efulayimu aliweebwa ensonyi, ne Isiraeri alikwatirwa ensonyi okuteesa kwe ye. 7Samaliya, kabaka waamu azikiridde ng'ejjovu ku mazzi. 8#1 Bassek 12:30, Am 8:14, Luk 23:30, Kub 6:16Era n'ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, okwonoona kwa Isiraeri, birizikirizibwa: amaggwa n'amatovu galimerera ku byoto byabwe; era baligamba ensozi nti Mutubikkeko; n'obusozi nti Mutugweko. 9#Kos 9:9Ai Isiraeri, wayonoonanga okuva ku nnaku ez'e Gibeya: baayimirira eyo; olutalo lwe balwana n'abaana ab'obujeemu luleme okubatuukirako mu Gibeya. 10Bwe ndiba nga njagadde, ndibakangavvula; n'amawanga galikuŋŋaanyizibwa okulwana nabo, bwe balisibibwa n'okusobya kwabwe kwombi. 11#Ma 25:4Era Efulayimu nte nduusi eyigirizibwa, eyagala okusamba eŋŋaano; naye nninnye mu bulago bwe obulungi. Nditeeka ku Efulayimu alimwebagala; Yuda alirima; Yakobo alikuba amavuunike. 12#Is 45:8, Yer 4:3Mwesigire mu butuukirivu, mukungule ng'okusaasira bwe kuli; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime: kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesaako obutuukirivu. 13#Kos 8:7Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba: kubanga weesiganga ekkubo lyo, olufulube lw'abasajja bo ab'amaanyi. 14#2 Bassek 17:3, Kos 13:16Okusasamala kyekuliva kubeera mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birinyagibwa, nga Sulumaani bwe yanyaga Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo: nnyaabwe yatandaggirwa wamu n'abaana be. 15Era bw'atyo Beseri bw'alibakola olw'obubi bwammwe obwenkanidde awo: emmambya bw'eriba ng'esala, kabaka wa Isiraeri alizikirizibwa ddala.

Currently Selected:

Koseya 10: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in