YouVersion Logo
Search Icon

Kaabakuuku 2

2
1 # Zab 85:8, Is 21:8 Ndiyimirira we nkuumira ne nneeteeka ku kigo, ne nnengera okulaba by'anaayogera nange, era bye mba nziramu eby'okwemulugunya kwange. 2#Is 30:8, Dan 10:14, 2 Peet 3:9Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti Wandiika okwolesebwa okwo, okwole bulungi ku bipande, akusoma adduke mbiro. 3Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo. 4#Bar 1:17, Bag 3:11Laba, emmeeme ye yeegulumizizza, si ngolokofu mu ye: naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe. 5#Nge 27:20, Beb 10:38, Is 5:14, Dan 2:37,38Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, musajja wa malala, era atatuula waka; agaziya okwegomba kwe ng'amagombe, era ali ng'okufa, so tayinza kukkuta, naye n'akuŋŋaanyiza gy'ali amawanga gonna, ne yeetuumira ebika byonna. 6#Is 5:8, Mi 2:4, Zek 1:12Abo bonna tebalimugererako lugero ne bamukokkolerako ekikokko ne boogera nti Zimusanze oyo ayaza ebyo ebitali bibye! alituusa wa? era eyeebinika emisingo! 7Tebaliyimuka nga tomanyiridde abo abalikuluma, tebalizuukuka abalikweraliikiriza, naawe n'oba munyago gye bali? 8#Is 33:1Kubanga wanyaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakibeeramu.
9 # Is 14:13; 49:16 Zimusanze oyo afunira ennyumba ye amagoba amabi, azimbe ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw'obubi! 10#Kubal 16:38Oteeserezza ennyumba yo ensonyi, ng'omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe. 11#Luk 19:40Kubanga ejjinja liryogerera waggulu nga liyima mu kisenge, n'omuti guliriddamu nga guyima mu misekese.
12 # Mi 3:10 Zimusanze oyo azimba ekibuga n'omusaayi, n'anyweza ekibuga n'obutali butuukirivu! 13#Yer 51:58Laba, tekyava eri Mukama w'eggye abantu okutengejjera omuliro, n'amawanga okweyooyeseza obutaliimu? 14#Zab 72:19, Is 11:9Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja.
15 # Yer 51:7, Kung 4:21 Zimusanze oyo awa munne ebyokunywa, n'oyongerako n'obutwa bwo, n'okutamiiza n'omutamiiza olyoke otunuulire ensonyi zaabwe! 16#Yer 25:15, Nak 3:5,6Ojjudde ensonyi awaabanga ekitiibwa: naawe nywa, obeere ng'atali mukomole: ekikompe eky'omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa eri ggwe, n'ensonyi ez'obuwemu ziriba ku kitiibwa kyo. 17#Yer 22:23Kubanga ekyejo ekyagirirwa Lebanooni kirikubikkako, n'okuzikirira kw'ensolo ezaabatiisanga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakituulamu.
18 # Is 44:10, Yer 10:8,14, 1 Kol 12:2 Ekifaananyi ekyole kigasa ki, omukozi waakyo n'okwola n'akyola; ekifaananyi ekisaanuuse n'omuyigiriza w'eby'obulimba bigasa ki, omukozi w'omulimu gwe n'okwesiga n'akyesiga, okukola essanamu ensiru! 19#1 Bassek 18:26,27, Zab 135:17Zimusanze oyo agamba omuti nti Zuukuka; agamba ejjinja essiru nti Golokoka! Kino kinaayigiriza? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, so tewali mukka n'akamu kokka wakati mu kyo. 20#Zab 11:4, Zek 2:13Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: ensi zonna zibunire mu maaso ge.

Currently Selected:

Kaabakuuku 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy