Olubereberye 49
49
1Yakobo n'ayita abaana be abasajja, n'ayogera nti Mukuŋŋaane ndyoke mbabuulire ebiribabaako mu nnaku ez'enkomerero.
2Mukuŋŋaane, muwulire, mmwe abaana ba Yakobo;
Muwulire Isiraeri kitammwe.
3 #
Lub 29:32, Ma 21:17; 33:6 Lewubeeni, ggwe oli mubereberye wange, buyinza bwange, era amaanyi gange mwe gasookera;
Ekitiibwa ekisinga, n'obuyinza obusinga.
4 #
Lub 35:22, Ma 27:20, 1 Byom 5:1 Omulebevu ng'amazzi tolisinga;
Kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo:
N'okigwagwawaza: yalinnya ku kiriri kyange.
5 #
Lub 29:33,34; 34:25,26, Ma 33:8-11 Simyoni ne Leevi ba luganda;
Ebitala byabwe bya kulwanyisa bya maanyi.
6 #
Zab 26:6
Ggwe emmeeme yange, tojjanga mu lukiiko lwabwe;
Ggwe ekitiibwa kyange, teweegattanga n'ekibiina kyabwe;
Kubanga olw'obusungu bwabwe batta omusajja,
N'olw'eddalu lyabwe baatema ente olunywa.
7 #
Yos 19:1,9; 21:1-3, 1 Byom 4:31,38-43 Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
N'obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima:
Ndibaawula mu Yakobo,
Ndibasaasaanya mu Isiraeri.
8 #
Lub 29:35, Ma 33:7, 1 Byom 5:2 Yuda, ggwe baganda bo banaakutenderezanga:
Omukono gwo gunaabanga ku bulago bw'abalabe bo;
Abaana ba kitaawo banaakutamanga mu maaso go.
9 #
Kubal 24:9, Kub 5:5 Yuda ye mwana w'empologoma;
Olinnye mwana wange, ng'ovudde ku muyiggo:
Yakutama, yabwama ng'empologoma,
Era ng'empologoma enkazi; ani anaamubuusa?
10 #
Kubal 24:17, Zab 60:7; 108:8 Effumu lya kabaka teriivenga ku Yuda,
Newakubadde omuggo gw'oyo afuga teguuvenga wakati mu bigere bye,
Okutuusa Siiro lw'alijja;
N'oyo abantu gwe banaawuliranga.
11Ng'asiba omwana w'ensolo ye ku muzabbibu,
N'omwana w'endogoyi ye ku muzabbibu ogusinga obulungi;
Yayoza ebyambalo bye n'omwenge,
N'engoye ze n'omusaayi gw'ezzabbibu:
12 #
Ma 21:17; 33:6 Amaaso ge ganaamyukanga n'omwenge,
N'amannyo ge ganaatukulanga n'amata.
13 #
Lub 30:20, Ma 33:18,19 Zebbulooni anaatuulanga ku ttale ly'ennyanja:
Anaabanga omwalo ogw'amaato;
N'ensalo ye eneebanga ku Sidoni.
14 #
Lub 30:18, Ma 33:18,19 Isakaali ye ndogoyi erina amaanyi,
Egalamira awali ebisibo by'endiga: 15N'alaba okuwummula nga kulungi,
N'ensi nga ya kwesiima;
N'akutamya ekibegabega kye okusitula,
N'afuuka omuddu alagirwa emirimu. 16#Lub 30:6, Ma 33:22Ddaani anaasaliranga abantu be emisango,
Ye nga kye kika mu bika bya Isiraeri.
17 #
Balam 18:27
Ddaani anaabanga omusota mu luguudo,
Embalasaasa mu kkubo,
Eruma embalaasi ebinuulo,
N'okugalanjuka ey'ebagadde n'agalanjuka.
18 #
Zab 25:5; 62:5, Is 25:9, Mi 7:7 Nindiridde obulokozi bwo, ai Mukama.
19 #
Lub 30:10,11, Ma 33:20 Gaadi, ekibiina kirimunyigiriza:
Naye alinyigiriza ekisinziiro kyabwe.
20 #
Lub 30:12,13, Ma 33:24,25 Mu Aseri emmere ye eneebanga ngimu,
Anaaleetanga enva ennungi eza kabaka.
21 #
Lub 30:7,8, Ma 33:23 Nafutaali ye mpeewo esumuluddwa:
Ayogera ebigambo ebirungi.
22 #
Lub 30:23,24; 41:52 Yusufu lye ttabi eribala ennyo.
Ettabi eribala ennyo awali oluzzi;
Abaana be babuna bbugwe.
23 #
Lub 37:24; 39:20 Abalasa obusaale baamunakuwaza nnyo,
Baamulasa, baamuyigganya:
24 #
Yob 29:20, Zab 80:1; 132:2,5, Is 1:24; 28:16 Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi,
N'emikono gy'engalo ze ne giweebwa amaanyi,
Eri emikono gy'Omuyinza wa Yakobo,
(Omuva omusumba, ejjinja lya Isiraeri,)
25 #
Lub 35:3,11, Ma 33:13 Ye Katonda wa kitaawo, anaakubeeranga,
Ye Muyinza w'ebintu byonna, anaakuwanga omukisa,
Omukisa oguva mu ggulu waggulu,
N'omukisa oguva mu nnyanja egalamira wansi,
N'omukisa oguva mu mabeere, n'oguva mu lubuto.
26 #
Ma 33:15,16 Omukisa gwa kitaawo
Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajja bange
Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero ey'ensozi ezitaliggwaawo:
Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu
Ne ku bwezinge bw'oyo eyayawulibwa ne baganda be.
27 #
Lub 35:18, Ma 33:12, Balam 20:21,25 Benyamini gwe musege ogunyaga:
Enkya anaalyanga omuyiggo,
Era akawungeezi anaagabanga omunyago.
28Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri: n'ebyo kitaabwe bye yababuulira n'abasabira omukisa; buli muntu ng'omukisa gwe bwe gwali bwe yabasabira bw'atyo omukisa. 29#Lub 23:9N'abakuutira, n'abagamba nti ŋŋenda okutwalibwa awali abantu bange: munziikanga wamu ne bajjajja bange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30#Lub 23:16-18mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, eri mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro okuba obutaka obw'okuziikangamu: 31#Lub 23:19; 25:9; 35:29eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; eyo gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya: 32ennimiro n'empuku egirimu, abaana ba Keesi gye baabaguza. 33#Bik 7:15Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'afunya amagulu ge ku kitanda, n'ata obulamu, n'atwalibwa eri abantu be.
Currently Selected:
Olubereberye 49: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.