YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 35

35
1 # Lub 27:43; 28:13,19 Katonda n'agamba Yakobo nti Golokoka, oyambuke e Beseri, otuule eyo: ozimbire eyo ekyoto eri Katonda, eyakulabikira bwe wadduka amaaso ga Esawu muganda wo. 2#Lub 31:19, Kuv 19:10, Yos 24:15,23, 1 Sam 7:3Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, muwaanyise ebyambalo byammwe: 3#Lub 28:20; 31:3,42; 32:7,24tugolokoke, twambuke e Beseri: nange ndizimbira eyo ekyoto eri Katonda, eyanziramu ku lunaku olw'okweraliikirira kwange, era eyabanga nange mu kkubo lye nnatambuliramu. 4#Yos 24:26, Balam 9:6, 1 Sam 10:2Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna abaali mu mukono gwabwe, n'empeta ezaali mu matu gaabwe; Yakobo n'abikweka wansi w'omwera ogwali mu Sekemu. 5#Kuv 15:16; 23:27, Ma 11:25, Yos 2:9Ne batambula: n'entiisa ennyingi n'egwa ku bibuga ebyabeetooloola, ne batagoberera baana ba Yakobo. 6#Lub 28:19Awo Yakobo n'atuuka e Luzi, ekiri mu nsi ya Kanani (ye Beseri), ye n'abantu bonna abaali naye. 7#Lub 35:1N'azimbira eyo ekyoto, n'ayita ekifo Erubeseri: kubanga eyo Katonda gye yamubikkulirwa, bwe yadduka amaaso ga muganda we. 8#Lub 24:59Debola, omulenzi wa Lebbeeka, n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera: ne bagutuuma erinnya Alooninakusi.
9 # Kos 12:4 Katonda n'alabikira nate Yakobo, bwe yava mu Padanalaamu, n'amuwa omukisa. 10#Lub 17:5; 32:28Katonda n'amugamba nti Erinnya lyo Yakobo: erinnya lyo tokyayitibwa nate Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo: n'amutuuma erinnya Isiraeri. 11#Lub 17:1-8; 26:3; 48:3,4Katonda n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna: oyale weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo; 12n'ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo eririddawo ndiriwa ensi. 13#Lub 17:22Katonda n'ava gy'ali n'alinnya mu kifo mwe yayogerera naye. 14#Lub 28:18Yakobo n'asimba empagi mu kifo mwe yayogerera naye, empagi ey'amayinja: n'agifukako ekiweebwayo ekyokunywa, n'agifukako amafuta. 15#Lub 28:19Yakobo n'atuuma ekifo Katonda mwe yayogerera naye erinnya lyakyo Beseri. 16Ne bava mu Beseri ne batambula; baali babulako ekiseera batuuke e Efulasi: Laakeeri n'ayagala okuzaala, n'alumwa nnyo. 17#Lub 30:24Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti Totya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala. 18Awo olwatuuka, obulamu bwe bwali nga bunaatera okugenda (kubanga yafa), n'amutuuma erinnya Benoni: naye kitaawe n'amutuuma Benyamini. 19#Lub 48:7, Luus 1:2; 4:11, Mi 5:2, Mat 2:6Laakeeri n'afa, ne bamuziika mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu). 20#1 Sam 10:2Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge: eyo ye mpagi ey'amalaalo ga Laakeeri ne leero. 21Isiraeri n'atambula, n'asimba eweema ye ng'ayise ku kigo kya Ederi. 22#Lub 49:4, 1 Byom 5:1Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe: Isiraeri n'akiwulirako.
Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri: 23#Lub 29:31—30:24; 35:17,18, Kuv 1:2-4abaana ba Leeya; Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni: 24abaana ba Laakeeri; Yusufu, ne Benyamini: 25n'abaana ba Bira, omuzaana wa Laakeeri; Ddaani ne Nafutaali: 26n'abaana ba Zirupa, omuzaana wa Leeya; Gaadi ne Aseri: abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa mu Padanalaamu. 27#Lub 13:18, Yos 14:15Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe mu Mamule, mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. 28N'ennaku za Isaaka zaali myaka kikumi mu kinaana. 29#Lub 25:9; 49:31Isaaka n'ata omukka, n'afa, n'atwalibwa eri abantu be, ng'akaddiye, ng'awezezza ennaku nnyingi: Esawu ne Yakobo abaana be ne bamuziika.

Currently Selected:

Olubereberye 35: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy