YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 31

31
1N'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti Yakobo byonna ebyali ebya kitaffe abimuggyeeko; era mu ebyo ebyali ebya kitaffe mw'afunidde ekitiibwa ekyo kyonna. 2Yakobo n'alaba amaaso ga Labbaani, era laba, nga tegakyafaanana gy'ali ng'olubereberye. 3#Lub 28:15Mukama n'agamba Yakobo nti Ddayo mu nsi ya bajjajja bo, era eri baganda bo; nange naabeeranga wamu naawe. 4Yakobo n'atuma n'ayita Laakeeri ne Leeya bajje mu ddundiro awali ekisibo kye, 5#Lub 21:22, Is 41:10n'abagamba nti Ndabye amaaso ga kitammwe nga tegakyafaanana gye ndi ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange yabeeranga nange. 6#Lub 30:29Era mumanyi nga naweerezanga kitammwe n'amaanyi gange gonna. 7#Lub 15:1, Kubal 14:22, Yob 19:3Era kitammwe yannimba, n'awaanyisanga empeera yange emirundi kkumi; naye Katonda teyamuganya kunkola bubi. 8#Lub 30:32Bwe yayogeranga bw'ati nti Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi: era bwe yayogeranga bw'ati nti Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga. 9#Lub 31:1,16Bw'atyo Katonda ensolo za kitammwe yazimuggyako, n'aziwa nze. 10Awo olwatuuka mu biro ekisibo bwe kyawaka amawako, ne nnyimusa amaaso gange, ne ndabira mu kirooto, era, laba, embuzi ennume ezaalinnyira ekisibo zaali za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo. 11Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mu kirooto nti Yakobo: ne njogera nti Nze nzuuno. 12#Kuv 3:7N'ayogera nti Yimusa kaakano amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo: kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukolera. 13#Lub 28:18-22; 31:3; 32:9Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo: kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu. 14#Lub 2:24, 2 Sam 20:1, 1 Bassek 12:16Laakeeri ne Leeya ne baddamu ne bamugamba nti Tukyalina omugabo oba busika mu nnyumba ya kitaffe? 15#Lub 29:20,30Tetubalibwa nga bannaggwanga gy'ali? kubanga yatutunda, era n'ebintu byaffe abiriiridde ddala. 16Kubanga obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe, bwe bwaffe era bwa baana baffe: kale kaakano, kyonna Katonda ky'akugambye, kikole. 17Yakobo n'alyoka agolokoka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamira; 18n'atwala naye ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yali akuŋŋaanyizza, ebisibo bye yali afunye, bye yakuŋŋaanyiza mu Padanalaamu, agende eri Isaaka kitaawe mu nsi ya Kanani. 19#Balam 17:5, 1 Sam 19:13, Ez 21:21, Kos 3:4Labbaani yali agenze okusala ebyoya by'endiga ze: Laakeeri n'abba baterafi ba kitaawe. 20Yakobo n'agenda mu kyama Labbaani Omusuuli nga tamanyi, kubanga teyamubuulira ng'adduka. 21#2 Bassek 12:17, Luk 9:51Bw'atyo n'adduka ne byonna bye yalina; n'agolokoka n'awunguka omugga, n'akyusa amaaso ge eri olusozi olwa Gireyaadi.
22Ne babuulira Labbaani ku lunaku olw'okusatu nga Yakobo yadduka. 23N'atwala naye baganda be, n'amugoberera olugendo lwa nnaku musanvu; n'amutuukako ku lusozi Gireyaadi. 24#Lub 20:3; 24:50, 2 Sam 13:22Katonda n'ajjira Labbaani Omusuuli mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi. 25Labbaani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye ku lusozi; ne Labbaani ne baganda be ne basimba ku lusozi Gireyaadi. 26Labbaani n'agamba Yakobo nti Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala? 27#Lub 31:20Kiki ekyakuddusa ekyama ng'onkisa ng'ogenda; n'otombuulira, ndyoke nkusiibule n'ekinyumu n'ennyimba, n'ebitaasa n'ennanga; 28#Luus 1:9, 1 Bassek 19:20, Bik 20:37n'otoŋŋanya kunywegera batabani bange ne bawala bange? kaakano okoze kya busirusiru. 29#Lub 31:24Kiri mu buyinza bw'omukono gwange okukukola obubi: naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro, nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi. 30#Lub 31:19, Balam 18:24Ne kaakano oyagala nnyo okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo, (naye) kyewava obba bakatonda bange kiki? 31Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti Kubanga natya: kubanga nayogera nti Oleme okunziyako bawala bo olw'empaka. 32#Lub 44:9Buli gw'onoolaba ng'alina bakatonda bo, taabe mulamu: mu maaso ga baganda baffe yawulamu ebibyo ebiri ewange, obyetwalire. Kubanga Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri ye yababba. 33Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri. 34Laakeeri yali atutte baterafi, n'abassa mu matandiiko g'eŋŋamira, n'abatuulako. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba. 35#Kuv 20:12, Leev 19:32N'agamba kitaawe nti Mukama wange aleme okusunguwala kubanga siyinza kukuyimirira w'oli kubanga ndi mu mpisa y'abakazi. N'anoonya, naye n'atalaba baterafi. 36Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani: Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti Nsobezza ki? (Nkoze kibi ki ekikungoberesezza embiro?) 37#1 Sam 12:3Kubanga oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabye ku bintu byonna eby'omu nnyumba yo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango fembi. 38Emyaka egyo abiri nabeeranga naawe; endiga zo n'embuzi zo enkazi tezisowolanga, n'ennume ez'omu kisibo kyo siziryanga. 39#Kuv 22:10,12Eyataagulwanga ensolo saakuleeteranga; nze nnafiirwanga eyo; wagivunaananga mu mukono gwange, obanga yabbibwanga misana oba yabbibwanga kiro. 40Bwe nnaabeeranga bwe ntyo; emisana omusana gwanzigwerangako, n'ekiro empewo; n'otulo twambulanga mu maaso gange. 41#Lub 29:20,30; 31:7Emyaka egyo abiri nabeeranga mu nnyumba yo; nakuweererezanga emyaka kkumi n'ena olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga olw'ekisibo kyo; naawe wawaanyisanga empeera yange emirundi kkumi. 42#Lub 29:32; 31:24, Zab 124:1,2, Is 8:13Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, n'akujunga ekiro. 43Labbaani n'addamu n'agamba Yakobo nti Abawala be bawala bange, n'abaana be baana bange, n'ebisibo by'ebisibo byange, ne byonna by'olaba bye byange: ne leero nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba baana baabwe be baazaala? 44#Lub 26:28Kale nno kaakano, tulagaane endagaano, nze naawe; ebeerenga omujulirwa eri nze naawe. 45#Lub 28:18Yakobo n'addira ejjinja, n'alisimba okuba empagi. 46Yakobo n'agamba baganda be nti Mukuŋŋaanye amayinja; ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu: ne baliira awo awali entuumu. 47Labbaani n'agituuma erinnya Yegalusakadusa: naye Yakobo n'agituuma Galeedi. 48#Yos 24:27Labbaani n'ayogera nti Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero. Erinnya lyayo kyeryava libeera Galeedi: 49era Mizupa, kubanga yayogera nti Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba nga tetukyalabagana. 50#Balam 11:10, Yer 42:5, Mi 1:2Bw'onoobonyaabonyanga abaana bange, era bw'onoowasanga abalala awali abaana bange, tewali muntu ali naffe; laba, Katonda ye mujulirwa wakati wange naawe. 51Labbaani n'agamba Yakobo nti Laba entuumu eno, era laba n'empagi eno, gye nsimbye wakati wange naawe. 52Entuumu eno eneebeeranga omujulirwa, n'empagi ebeerenga omujulirwa, nga nze siriyita ku ntuumu eno okugenda gy'oli, era nga naawe toliyita ku ntuumu eno n'empagi eno okujja gye ndi, okukola obubi. 53#Lub 16:5; 31:42Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamule wakati waffe. Yakobo n'alayira Entiisa ya kitaawe Isaaka. 54Yakobo n'aweerayo saddaaka ku lusozi, n'ayita baganda be okulya emmere: ne balya emmere, ne babeera ku lusozi ne bakeesa obudde. 55#Lub 31:28Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera batabani be ne bawala be n'abasabira omukisa: Labbaani n'agenda n'addayo mu kifo kye.

Currently Selected:

Olubereberye 31: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy