YouVersion Logo
Search Icon

Ezera 1

1
1 # Ezer 5:13, Yer 25:12,13; 29:10 # 2 Byom 36:22,23 Awo mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya kituukirire, Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi n'okulangirira n'alangirira okubunya obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'ayogera 2#Is 44:28; 45:1,13nti Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. 3#Dan 6:26Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda we abeere naye, ayambuke mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe ennyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, (ye Katonda,) ali mu Yerusaalemi. 4Era buli asigadde mu kifo kyonna mw'abeera nga mugenyi, abasajja ab'omu kifo kye bamubeere ne ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo, obutassaako ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi. 5#Baf 2:13Awo emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Yuda ne Benyamini ne bagolokoka, ne bakabona n'Abaleevi, bonna Katonda be yakubiriza omwoyo gwabwe okwambuka okuzimba ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi. 6#Kuv 12:35,36Awo abo bonna ababeetoolodde ne banyweza emikono gyabwe n'ebintu ebya ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo n'ebintu eby'omuwendo omungi obutassaako ebyo byonna bye baawaayo ku bwabwe. 7#2 Bassek 24:13, 2 Byom 36:7, Ezer 5:14; 6:5Era Kuulo kabaka n'afulumya ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza bye yaggya mu Yerusaalemi n'abiteeka mu sabo lya bakatonda be: 8#Ezer 5:14ebyo Kuulo kabaka w'e Buperusi n'abifulumya mu mukono gwa Misuledasi omuwanika, n'abibalira Sesubazzali omukulu wa Yuda. 9Era guno gwe muwendo gwabyo: essowaani eza zaabu amakumi asatu, essowaani eza ffeeza lukumi, obwambe amakumi abiri mu mwenda; 10ebibya ebya zaabu amakumi asatu, ebibya ebya ffeeza eby'omutindo ogw'okubiri ebikumi bina mu kkumi, n'ebintu ebirala lukumi. 11Ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina. Ebyo byonna Sesubazzali yabiggyayo n'abireeta, abanyage bwe baggibwa e Babulooni ne baleetebwa e Yerusaalemi.

Currently Selected:

Ezera 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy