Okuva 7:11-12
Okuva 7:11-12 LUG68
Falaawo naye n'alyoka ayita abagezi n'abalogo: era nabo abasawo Abamisiri ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama. Kubanga baasuula buli muntu omuggo gwe, ne giba emisota: naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe.





