Okuva 6:8-9
Okuva 6:8-9 LUG68
Era ndibayingiza mu nsi eri, gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigiwa mmwe okubeera obutaka: nze Yakuwa. Musa n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri: naye ne batawulira Musa ku lw'obunaku obw'omwoyo, era ne ku lw'obuddu obukambwe.





