Okuva 12:12-13
Okuva 12:12-13 LUG68
Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro kiri, ndikuba ababereberye bonna mu nsi ey'e Misiri, omuntu era n'ensolo; era ku bakatonda bonna ab'e Misiri ndisala emisango: nze Mukama. Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey'e Misiri.





