YouVersion Logo
Search Icon

Abakkolosaayi 4

4
1 # Leev 25:43,53 Bakama baabwe, mugabirenga abaddu bammwe eby'obutuukirivu n'okwenkanyankanyanga; nga mumanyi nga era nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.
2 # 1 Bas 5:17, Bef 6:18, Baf 4:6 Munyiikirirenga mu kusaba, nga mutunulanga mu kusaba mu kwebaza; 3#Bar 15:30, Bef 6:18,19, 2 Bas 3:1, 1 Kol 16:9nate nga mutusabira naffe, Katonda okutuggulirawo oluggi olw'ekigambo, okwogera ekyama kya Kristo, n'okusibibwa kye nnasibirwa; 4#Bef 6:20ndyoke nkyolesenga, nga bwe kiŋŋwanidde okwogera. 5#Bef 5:15, 1 Bas 4:12Mutambulirenga mu magezi eri abo ab'ebweru, nga mweguliranga ebbanga. 6#Bef 4:29, Mak 9:50, 1 Peet 3:15Ebigambo byammwe bibeerenga n'ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.
7 # Bef 6:21 Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe, alibategeeza ebifa gye ndi byonna: 8#Bef 6:22gwe ntuma gye muli olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli era asanyuse emyoyo gyammwe; 9#Fir 1:10wamu ne Onnessimo, ow'oluganda omwesigwa omwagalwa, ow'ewammwe. Balibategeeza ebifa wano byonna.
10 # Bik 19:29; 27:2; 18:27 Alisutaluuko, musibe munnange, abalamusizza, ne Makko, mujjwa wa Balunabba, (gwe mwalagirwa; bw'alijja gye muli, mumwanirizanga), 11ne Yesu ayitibwa Yusito, ab'omu bakomole abo bokka be bakozi bannange olw'obwakabaka bwa Katonda, abansanyusanga. 12#Bak 1:7Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala. 13Kubanga ndi mujulirwa we ng'alina emirimu mingi ku lwammwe, n'ab'omu Lawodikiya, n'ab'omu Kiyerapoli. 14#2 Tim 4:10,11, Fir 1:24Lukka, omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza. 15Mulamuse ab'oluganda ab'omu Lawodikiya, ne Nunfa, n'ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. 16Era ebbaluwa eno bw'emalanga okusomerwa mu mmwe, era mugisomese ne mu kkanisa ey'Abalawodikiya; era nammwe musome eriva mu Lawodikiya. 17#Fir 1:2Era mugambe Alukipo nti Weekuumenga okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okukutuukiriza.
18 # 1 Kol 16:21, 2 Bas 3:17 Kuno kwe kulamusa kwange n'omukono gwange nze Pawulo. Mujjukirenga okusibibwa kwange. Ekisa kibeerenga nammwe.

Currently Selected:

Abakkolosaayi 4: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy