YouVersion Logo
Search Icon

Amosi 9

9
1 # Balam 16:26-30 Nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekyoto: n'ayogera nti Kuba emitwe, emiryango gikankane: era bamenyeemenye ku mitwe gy'abo bonna; era nditta n'ekitala ow'enkomerero ku bo: tewaliba ku bo alidduka, so tewaliba ku bo aliwona n'omu. 2#Zab 139:8,9Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo; era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, ndibassa okubaggyayo. 3Era newakubadde nga beekwekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikenneenya ne mbaggyayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw'ennyanja wansi, ndiragirira eyo omusota ne gubaluma. 4#Yer 21:10Era newakubadde nga bagenda mu busibe mu maaso g'abalabe baabwe, ndiragirira eyo ekitala ne kibatta: era nditeeka amaaso gange ku bo olw'okuleeta obubi so si bulungi. 5#Zab 46:6Kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, ye wuuyo akoma ku nsi n'esaanuuka, na bonna abagibeeramu baliwuubaala; era eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era erikka nate nga Omugga ogw'e Misiri; 6#Zab 104:3ye wuuyo azimba amayu ge mu ggulu, era eyateekawo ebbanga lye ku ttaka; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olunalu; Mukama lye linnya lye. 7#Yer 47:4, Am 1:5Mmwe temuli ng'abaana b'Abaesiyopya gye ndi, ai abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama. Saggya Isiraeri mu nsi y'e Misiri ne mbalinnyisa, ne nziya Abafirisuuti e Kafutoli, n'Abasuuli e Kiri? 8#Yer 30:11Laba, amaaso ga Mukama Katonda gali ku bwakabaka obulina ebibi, era ndibuzikiriza okuva ku maaso g'ettaka; kyokka sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama. 9#Is 30:28, Luk 22:31Kubanga, laba, ndiragira era ndiwewera ennyumba ya Isiraeri mu mawanga gonna, ng'eŋŋaano bw'ewewerwa mu lugali, naye tewaliba na kaweke na kamu akaligwa ku ttaka. 10#Am 6:3Abalina ebibi bonna ab'omu bantu bange balifa n'ekitala aboogera nti Obubi tebulitutuukako so tebalitukulembera. 11#Bik 15:16-18Ku lunaku olwo ndisimba eweema ya Dawudi eyagwa, ne nziba ebituli byayo; era ndisimba ebibye ebyagwa, era ndigizimba nga mu nnaku ez'edda; 12balyoke balye ekitundu kya Edomu ekifisseewo, n'amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange, bw'ayogera Mukama akola kino. 13#Leev 26:5, Yo 3:18Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo; n'ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bwonna bulisaanuuka. 14#Is 61:4, Yer 31:5Era ndikomyawo obusibe bw'abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo, ne babituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu. 15#Yer 24:6Era ndibasimba ku nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bw'ayogera Mukama Katonda wo.

Currently Selected:

Amosi 9: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy