Amosi 9:13-14
Amosi 9:13-14 LUG68
Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo; n'ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bwonna bulisaanuuka. Era ndikomyawo obusibe bw'abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo, ne babituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.





