Bible App logo
Search Icon

Amosi 7

7
1Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, yabumba enzige ebimererezi nga bitanudde okumera; era, laba, byali bimererezi okukungula kwa kabaka nga kuwedde. 2Awo olwatuuka bwe zaamala okulya omuddo ogw'omu nsi ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiridde: Yakobo anaayimirira atya? kubanga mutono. 3#Yo 2:13Mukama ne yejjusa olw'ekyo: Tekiribaawo, bw'ayogera Mukama.
4Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: kale, laba, Mukama Katonda n'ayita abantu okuwakana n'omuliro; ne gwokya obuziba obunene, era gwandimazeewo n'olukalu. 5Awo ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiridde: Yakobo anaayinza atya okuyimirira? kubanga mutono. 6Awo Mukama ne yejjusa ekyo: Era n'ekyo tekiribaawo, bw'ayogera Mukama Katonda.
7 # 2 Bassek 21:13 Bw'atyo bwe yandaga: kale, laba, Mukama n'ayimirira ku mabbali g'ekisenge ekyazimbibwa n'omugwa ogugera, mu mukono gwe. 8Awo Mukama n'aŋŋamba nti Amosi, olaba ki? Ne ŋŋamba nti Omugwa ogugera. Awo Mukama n'ayogera nti Laba, nditeeka omugwa ogugera wakati w'abantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri: 9#Lub 26:23,25, 2 Bassek 15:8-12n'ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birirekebwawo, n'ebifo ebitukuvu ebya Isiraeri birizisibwa; era ndigolokokera ku nnyumba ya Yerobowaamu n'ekitala.
10 # 1 Bassek 12:32, Yer 38:4 Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Amosi akwekobedde wakati mu nnyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiikiriza bigambo bye byonna. 11Kubanga Amosi bw'ayogera bw'ati nti Yerobowaamu alifa n'ekitala, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye. 12#1 Sam 9:9, Am 1:1Era Amaziya n'agamba Amosi nti Ggwe omulabi, genda we ddukire mu nsi ya Yuda, oliire eyo emmere, olagulire eyo: 13#Am 2:12naye tolagulanga nate lwa kubiri e Beseri: kubanga kye kifo ekitukuvu ekya kabaka, era ye nnyumba ya kabaka. 14#Zek 13:5Awo Amosi n'alyoka addamu n'agamba Amaziya nti Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi; naye nnali musumba era musalizi w'emisukomooli: 15#Zab 78:71, Ez 6:2Mukama n'anziya ku mulimu ogw'okugoberera ekisibo, Mukama n'aŋŋamba nti Genda olagule abantu bange Isiraeri. 16Kale nno wulira ekigambo kya Mukama: Oyogera nti Tolagulanga ku Isiraeri, so totonnyesanga ku nnyumba ya Isaaka; 17#Yer 28:16; 29:21,31Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mukazi wo aliba mwenzi mu kibuga, ne batabani bo ne bawala bo baligwa n'ekitala, n'ensi yo erigabibwa n'omugwa; naawe kennyini olifiira mu nsi eteri nnongoofu, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.

Currently Selected:

Amosi 7: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in