Amosi 3
3
1 #
Am 1:10; 7:16 Muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, ku kika kyonna kye nnalinnyisa nga nkiggya mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera 2#Ma 7:6, Zab 147:19,20, Mat 11:21-23, Bar 2:9nti Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi zonna: kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna. 3Ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga batabaganye? 4Empologoma ewulugumira mu kibira nga terina muyiggo? empologoma ento eyima mu mpuku yaayo okulira nga teriiko ky'ekutte? 5Ennyonyi eyinza okugwa mu mutego ku nsi nga tebagiteze kakunizo? omutego gumasuka okuva wansi nga teguliiko kye gukwasizza? 6#Ez 33:3, Is 45:7, Mi 1:12Bafuuyira ekkondeere mu kibuga, abantu ne batatya? obubi bugwa ku kibuga, Mukama nga tabuleese? 7#Lub 18:17Mazima Mukama Katonda taliiko ky'alikola wabula ng'abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye. 8#Kubal 22:38Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde, ani ayinza obutalagula?
9 #
1 Bassek 16:24; 21:1-16 Mulangirire mu mayumba mu Asudodi ne mu mayumba mu nsi y'e Misiri, mwogere nti Mukuŋŋaanire ku nsozi ez'e Samaliya, mulabe enjoogaano eziri omwo bwe zenkana obungi, n'okujooga bwe kuli okuli omwo wakati. 10#Kuv 12:17,51Kubanga tebamanyi kukola bya nsonga, bw'ayogera Mukama, abo abatereka ekyejo n'obunyazi mu mayumba gaabwe. 11#Kubal 6:2,3Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Walibaawo omulabe, okwetooloola ensi enjuyi zonna: naye alikkakkanya amaanyi go okukuvaako, n'amayumba go galinyagibwa. 12#Kuv 22:13Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omusumba bw'awonyaako mu kamwa k'empologoma amagulu abiri oba ekitundu ky'okutu; bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baliwonyezebwa, abatuula mu Samaliya mu nsonda y'ekiriri ne ku bigugu ebya aliiri eby'oku kitanda. 13#Zab 50:7Muwulire mube abajulirwa eri ennyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama Katonda, Katonda ow'eggye. 14#1 Bassek 13:1-3, Kos 10:15Kubanga ku lunaku lwe ndibonereza Isiraeri olw'ebyonoono bye, era ndibonereza n'ebyoto bya Beseri, n'amayembe g'ekyoto galisalibwako ne gagwa wansi. 15#Balam 3:20, 1 Bassek 22:39, Yer 36:22Era ndikuba ennyumba eya ttoggo wamu n'ennyumba ey'ekyeya; n'ennyumba ez'amasanga ziribula, n'amayumba amanene galikoma, bw'ayogera Mukama.
Currently Selected:
Amosi 3: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.