YouVersion Logo
Search Icon

3 Yokaana 1

1
1 # 2 Yok 1 Nze omukadde mpandiikira Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2Omwagalwa, nsaba obeerenga bulungi mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu, ng'omwoyo gwo bwe gubeera obulungi. 3#2 Yok 4Kubanga nnasanyuka nnyo ab'oluganda bwe bajja ne bategeeza amazima go, nga ggwe bw'otambulira mu mazima. 4Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima.
5Omwagalwa, gya bwesigwa emirimu gyo gyonna gyonna gy'okolera ab'oluganda era abagenyi; 6#Tit 3:13abaategeeza okwagala kwo mu maaso g'ekkanisa; abo bw'onoobatambuzanga nga Katonda bw'asaanira, onookolanga bulungi: 7#Bik 20:35, 1 Kol 9:12,15kubanga baavaayo olw'Erinnya nga tebaweereddwa kintu ba mawanga. 8#Beb 13:2, 2 Yok 10Kale kitugwanidde okusembezanga abali ng'abo tulyoke tukolenga omulimu gumu n'amazima.
9Nnawandiikira ekkanisa ekigambo: naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza. 10Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'ayogera ku ffe ebigambo ebibi ebitaliimu: so ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba mu kkanisa. 11#1 Yok 3:6,9Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi. Akola obulungi ye wa Katonda: akola obubi nga talabanga Katonda. 12#Yok 19:35; 21:24Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini: era naffe tutegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima.
13 # 2 Yok 12 Nnalina ebigambo bingi okukuwandiikira, naye saagala kukuwandiikira na bwino na kkalaamu: 14naye nsuubira okukulaba amangu, tulyogera akamwa n'akamwa. 15Emirembe gibenga gy'oli. Ab'omukwano bakulamusizza. Lamusa ab'omukwano ng'amannya gaabwe bwe gali.

Currently Selected:

3 Yokaana 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy