2 Samwiri 8
8
1 #
1 Byom 8:1
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula: Dawudi n'aggyayo olukoba lw'ekibuga nnyina w'ensi mu mukono gw'Abafirisuuti. 2#Kubal 24:17N'akuba Mowaabu, n'abagera n'omugwa, ng'abagalamiza wansi; n'agerako emigwa ebiri egy'okutta n'omugwa ogumu omulamba ogw'okuwonya abalamu. Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleeta ebirabo. 3#1 Sam 14:47, 2 Sam 10:6,16,19, 1 Bassek 11:23-25Era Dawudi n'akuba ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yagenda okujeemulula amatwale ge ku Mugga. 4Dawudi n'amuggyako abasajja abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi bubiri: Dawudi n'azitema enteega embalaasi zonna ez'amagaali, naye n'aterekako ez'amagaali kikumi. 5Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri. 6Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko: Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne baleeta ebirabo. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. 7#2 Bassek 11:10Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi. 8Ne mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga bya Kadadezeri, kabaka Dawudi n'aggyamu ebikomo ebyayingirira obungi. 9#Kubal 34:8Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadadezeri, 10awo Toyi n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amukuba: kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta wamu naye ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo: 11#1 Bassek 7:51; 8:65, 1 Byom 26:26n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu gye yawonga gye yaggya ku mawanga gonna ge yawangula; 12#2 Sam 5:17-25; 12:30ku Busuuli ne Mowaabu n'abaana ba Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki ne ku munyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba. 13Dawudi ne yeefunira erinnya bwe yakomawo ng'amaze okukuba Abasuuli mu Kiwonvu eky'Omunnyo, abasajja kakumi mu kanaana. 14#Lub 25:23; 27:29,37,40, Kubal 24:18, 1 Bassek 11:15N'ateeka ebigo mu Edomu; yateeka ebigo okubuna Edomu, Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
15Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna: Dawudi n'asalira abantu be bonna emisango gya nsonga era gya mazima. 16#2 Sam 20:23-26, 1 Bassek 4:3, 1 Byom 11:6Ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosaffaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza: 17#2 Sam 15:24, 1 Bassek 4:4, 1 Byom 24:3,6ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Seroya ye yali omuwandiisi; 18#2 Sam 3:2-5; 5:13-16; 15:18; 23:20-23, 1 Bassek 1:38; 4:4,5ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu.
Currently Selected:
2 Samwiri 8: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.