2 Samwiri 7
7
1 #
1 Byom 17:1-27, Ma 12:10; 25:19, 1 Bassek 5:4 Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola, 2awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti Laba nno, nze ntuula mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ya Katonda etuula munda w'ebitimbe. 3Awo Nasani n'agamba kabaka nti Genda okole byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Mukama ali naawe. 4Awo olwatuuka ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti 5#1 Bassek 8:16,27, Is 66:1, Bik 7:48Genda obuulire omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ggwe olinzimbira ennyumba gye mba mbeeramu? 6#Kuv 40:18,19,21,34, 1 Bassek 8:16kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnaggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, ne leero, naye natambuliranga mu weema ne mu nnyumba entimbe. 7#Leev 26:11,12, Ma 23:14, 2 Sam 5:2Mu bifo byonna mwe nnatambulira n'abaana ba Isiraeri bonna, nali njogedde ekigambo n'ekika kyonna ekya Isiraeri, kye nnalagira okulunda abantu bange Isiraeri, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule? 8#1 Sam 16:11, Zab 78:70Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri: 9#1 Sam 18:14, 2 Sam 5:10; 8:6,14, Zab 89:27era nabanga naawe buli gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi. 10#2 Bassek 21:8, Zab 89:22Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye, 11#Balam 2:14-16, 1 Sam 2:35, 2 Sam 7:1,27, 1 Bassek 11:38era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era nate Mukama akubuulira nga Mukama alikukolera ennyumba. 12#1 Bassek 1:21; 2:10; 8:20, Zab 132:11, Luk 1:32, Bik 2:30; 13:23,36, Bar 1:3Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo ezzadde lyo eririddawo eririva munda yo, era ndinyweza obwakabaka bwe. 13#1 Bassek 5:5; 8:19, 1 Byom 22:10, Zab 89:26,27,32,33, Beb 1:5Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ennaku zonna. 14Nze ndiba kitaawe naye aliba mwana wange: bw'anaabanga ng'akoze ekitali kya butuukirivu, naamukangavvulanga n'omuggo ogw'abantu n'enga ez'abaana b'abantu; 15#1 Sam 13:14; 15:23,28, 1 Bassek 11:13,34, 2 Sam 23:5naye okusaasira kwange tekuumuvengako, nga bwe nnakuggya ku Sawulo, gwe nnaggyawo mu maaso go: 16#Zab 89:36,37, Luk 1:32,33N'ennyumba yo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go: entebe yo erinywezebwa ennaku zonna. 17Awo ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri n'okwolesebwa okwo kwonna, bw'atyo Nasani bwe yabuulira Dawudi.
18 #
Lub 32:10, 1 Sam 9:21; 18:18 Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti Nze ani, ai Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano? 19#2 Sam 7:12,13N'ekyo ne kiba nga kikyali kigambo kitono mu maaso go, ai Mukama Katonda; era naye oyogedde ku nnyumba y'omuddu wo okumala ebiro bingi ebiribaawo; n'ekyo ng'engeri y'abantu bw'eri, ai Mukama Katonda! 20Era kiki Dawudi ky'ayinza okukugamba nate? kubanga omanyi omuddu wo, ai Mukama Katonda. 21Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, okutegeeza omuddu wo. 22#Kuv 15:11, Ma 3:24, 2 Byom 2:5, Zab 44:1; 86:8,10; 89:6,8; 96:4; 135:5, Is 45:5, Yer 10:6, 1 Kol 8:5,6Ky'obeeredde omukulu, ai Mukama Katonda: kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe. 23#Ma 4:7,34; 9:26; 10:21; 33:29, Nek 1:10, Zab 147:20Era ggwanga ki erimu mu nsi erifaanana abantu bo, erifaanana Isiraeri, Katonda be yagenderera okwenunulira okuba abantu be, n'okwekolera erinnya, n'okubakolera ebikulu, n'okukolera ensi yo eby'entiisa, mu maaso g'abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri, okubaggya mu mawanga ne bakatonda baabwe? 24#Kuv 6:7, Ma 26:18Ne weenywereza abantu bo Isiraeri okuba abantu gy'oli ennaku zonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe. 25Era kaakano, ai Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde. 26Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri: n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go. 27#2 Sam 7:11Kubanga ggwe, ai Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti Ndikuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okukusaba okusaba kuno. 28#Kubal 23:19, Yok 17:17Era nno, ai Mukama Katonda, ggwe Katonda, n'ebigambo byo mazima, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi: 29#Zab 89:28,29kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna: kubanga ggwe, ai Mukama Katonda, okyogedde: era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.
Currently Selected:
2 Samwiri 7: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: