YouVersion Logo
Search Icon

2 Samwiri 6

6
1 # 1 Byom 13:6-14 Awo Dawudi n'akuŋŋaanya nate abasajja bonna abalonde aba Isiraeri, obukumi busatu. 2#Kubal 10:33,35, Yos 15:9, 1 Sam 4:4, 2 Byom 1:4Sawudi n'agolokoka n'agenda n'abantu bonna abaali naye, okuva e Baale Yuda okuggyayo ssanduuko ya Katonda okugirinnyisa, eyitibwa Erinnya lyennyini, erinnya lya Mukama ow'eggye atuula ku bakerubi. 3#1 Sam 6:7; 7:1Ne bateeka ssanduuko ya Katonda ku ggaali empya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi: Uzza ne Akiyo, batabani ba Abinadaabu, ne bagoba eggaali empya. 4Ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi n'essanduuko ya Katonda: Akiyo n'akulembera ssanduuko. 5#Zab 68:25; 150:3-5Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne bakubira mu maaso ga Mukama ebintu eby'emiberosi eby'engeri zonna n'ennanga n'entongooli n'ebitaasa n'ensaasi n'ebisaala. 6#Kubal 4:15, 1 Byom 15:2Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Uzza n'agolola omukono gwe ku ssanduuko ya Katonda n'agikwatako; kubanga ente yeesittala. 7#1 Sam 6:19Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Uzza; Katonda n'amukubira eyo olw'ekyonoono kye; n'afiira awo awali ssanduuko ya Katonda. 8#1 Byom 15:13Awo Dawudi n'anyiiga kuba Mukama awamatukidde Uzza: n'ayita ekifo ekyo Perezuzza, ne leero. 9Dawudi n'atya Mukama ku lunaku olwo; n'ayogera nti Essanduuko ya Mukama erijja etya gye ndi? 10Awo Dawudi n'atayagala kujjulula ssanduuko ya Mukama okugireeta gy'ali mu kibuga kya Dawudi; naye Dawudi n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 11#1 Byom 26:4,5Awo essanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu Omugitti: Mukama n'awa omukisa Obededomu n'ennyumba ye yonna. 12#1 Byom 15:25—16:3, 1 Bassek 8:1Awo ne babuulira kabaka Dawudi nti Mukama awadde omukisa ennyumba ya Obededomu n'ebibye byonna olw'essanduuko ya Katonda. Dawudi n'agenda n'aggya essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n'agirinnyisa mu kibuga kya Dawudi ng'asanyuka. 13#Kubal 4:15; 7:9, 1 Bassek 8:5, 1 Byom 15:2,15Awo olwatuuka abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baali batambudde ebigere mukaaga, n'awaayo ente n'ekya ssava. 14#Kuv 15:20, 1 Sam 2:18Dawudi n'azinira mu maaso ga Mukama n'amaanyi ge gonna; era Dawudi nga yeesibye ekkanzu eya bafuta. 15#Zab 47:5, Kuv 26:1Awo Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne balinnyisa essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu era nga bafuuwa ekkondeere. 16Awo olwatuuka essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama; n'amunyooma mu mutima gwe. 17#1 Bassek 8:5,62,63, 1 Byom 15:1, 2 Byom 1:4, Zab 132:8Ne bayingiza essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde: Dawudi n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama. 18#Kubal 6:22-27, 1 Bassek 8:14,55Awo Dawudi bwe yali amaze okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow'eggye. 19N'agabira abantu bonna, ekibiina kyonna ekya Isiraeri, abasajja n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu. Awo abantu bonna ne baddayo buli muntu mu nnyumba ye. 20#Balam 9:4, 1 Sam 19:24, 2 Sam 6:14Awo Dawudi n'akomawo okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okusisinkana ne Dawudi n'ayogera nti Kabaka wa Isiraeri ng'abadde wa kitiibwa leero, eyeebikkulidde leero mu maaso g'abazaana b'abaddu be, ng'omu ku basajja abataliiko kye bagasa bwe yeebikkula nga talina nsonyi! 21#1 Sam 13:14; 15:28, 2 Sam 5:2Dawudi n'agamba Mikali nti Kyabadde mu maaso ga Mukama, eyannonda okusinga kitaawo n'okusinga ennyumba ye yonna okunfuula omukulu w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri: kyennaavanga nzannyira mu maaso ga Mukama. 22Era neeyongeranga okwetoowaza okukirawo, era naabanga anyoomebwa mu maaso gange nze: naye abazaana b'oyogeddeko abo balinzisaamu ekitiibwa. 23Mikali muwala wa Sawulo n'atazaala mwana okutuusa ku lunaku kwe yafiira.

Currently Selected:

2 Samwiri 6: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in