2 Samwiri 3
3
1Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi: Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu.
2 #
1 Byom 3:1-4, 1 Sam 25:43, 2 Sam 13:1 Awo Dawudi n'azaalirwa abaana ab'obulenzi e Kebbulooni: n'omubereberye yali Amunoni, owa Akinoamu Omuyezuleeri; 3#1 Sam 25:42; 27:8, 2 Sam 13:1,37,38n'ow'okubiri Kireyaabu, owa Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri; n'ow'okusatu Abusaalomu mutabani wa Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w'e Gesuli; 4#1 Bassek 1:5n'ow'okuna Adoniya mutabani wa Kaggisi; n'ow'okutaano Sefatiya mutabani wa Abitali; 5n'ow'omukaaga Isuleyamu, owa Egula mukazi wa Dawudi. Abo be baazaalirwa Dawudi e Kebbulooni.
6Awo olwatuuka obulwa nga bukyaliwo eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi, Abuneeri ne yeefuula ow'amaanyi; mu nnyumba ya Sawulo. 7#2 Sam 16:21; 21:8-10, 1 Bassek 2:22Era Sawulo yalina omuzaana, erinnya lye Lizupa, muwala wa Aya: (Isubosesi) n'agamba Abuneeri nti Kiki ekikuyingizizza eri muzaana wa kitange? 8#1 Sam 17:43Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti Nze mutwe gw'embwa ogwa Yuda? Leero ndaga ekisa ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, era naye onnanze omusango ogw'omukazi oyo. 9#Luus 1:17, 1 Sam 15:28; 16:1,12; 25:30; 28:17Katonda akole bw'atyo Abuneeri n'okukirawo, bwe sirikolera ddala Dawudi nga Mukama bwe yamulayirira; 10#Balam 20:1 okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n'okusimba entebe ya Dawudi okufuga Isiraeri ne Yuda, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba. 11N'atayinza kumwanukula Abuneeri kigambo kirala, kubanga yamutya.
12Awo Abuneeri n'atumira Dawudi ababaka ku bubwe ye, ng'ayogera nti Nannyini nsi ye ani? era nti Lagaana nange, era, laba, omukono gwange guliba naawe okukukyukiza Isiraeri yenna. 13#Lub 43:3, 1 Sam 14:49N'ayogera nti Kale; ndiragaana naawe: naye waliwo ekimu kye nkussaako nga toliraba maaso gange, bw'otolimala kuleeta Mikali muwala wa Sawulo, bw'olijja okulaba amaaso gange. 14#1 Sam 18:25,27Awo Dawudi n'atumira Isubosesi mutabani wa Sawulo ababaka ng'ayogera nti Mpa mukazi wange Mikali gwe nnayogereza n'ebikuta ekikumi eby'Abafirisuuti. 15#1 Sam 25:44Awo Isubosesi n'atuma n'amuggya ku bba, ye Palutieri mutabani wa Layisi. 16Bba n'agenda naye ng'agenda ng'akaaba, n'amugoberera e Bakulimu. Awo Abuneeri n'amugamba nti Genda oddeyo: n'addayo.
17Awo Abuneeri n'ateesa n'abakadde ba Isiraeri ng'ayogera nti Mu biro eby'edda mwayagala Dawudi okuba kabaka wammwe: 18#2 Sam 3:9,10kale nno kaakano mukikole: kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi bwe ndirokola abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna. 19#1 Byom 12:23,29Abuneeri n'ayogera ne mu matu ga Benyamini: era Abuneeri n'agenda okwogera ne mu matu ga Dawudi e Kebbulooni byonna Isiraeri n'ennyumba yonna eya Benyamini bye baasiima. 20Awo Abuneeri n'ajja eri Dawudi e Kebbulooni n'abasajja amakumi abiri wamu naye. Dawudi n'afumbira embaga Abuneeri n'abasajja abaali naye. 21#2 Sam 3:12, 1 Bassek 11:37Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti Naagolokoka ne ŋŋenda ne nkuŋŋaanya Isiraeri yenna eri mukama wange kabaka, balagaane endagaano naawe, era ofuge bonna emmeeme yo be yeegomba. Dawudi n'asindika Abuneeri n'agenda mirembe. 22Awo, laba, abaddu ba Dawudi ne Yowaabu ne bakomawo okukwekweta, ne baleeta nabo omunyago omungi: naye Abuneeri teyali ne Dawudi e Kebbulooni; kubanga yali amusindise, naye ng'agenze mirembe. 23Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusindise, era yagenze mirembe. 24Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'ayogera nti Okoze ki? laba, Abuneeri yazze gy'oli; wamusindikidde ki, era agendedde ddala? 25Omanyi Abuneeri mutabani wa Neeri ng'azze okukulimba n'okumanya bw'ofuluma n'oyingira n'okumanya byonna by'okola. 26Awo Yowaabu bwe yafuluma okuva eri Dawudi, n'atuma ababaka okugoberera Abuneeri, ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwa Siira: naye Dawudi n'atakimanya. 27#2 Sam 2:22,23; 20:9,10, 1 Bassek 2:5,32Awo Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni, Yowaabu n'amwawulamu n'amutwala mu mulyango wakati okwogera naye mu kyama, n'amufumitira eyo olubuto, n'afa, olw'omusaayi gwa Asakeri muganda we. 28Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira n'ayogera nti Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango mu maaso ga Mukama ennaku zonna ogw'omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri: 29#Leev 13:45,46; 15:2, 2 Sam 1:16, 1 Bassek 2:5,6gugwe ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba yonna eya kitaawe; so mu nnyumba ya Yowaabu temubulanga muziku oba mugenge oba eyeesigama ku muggo oba agwa n'ekitala oba abulwa emmere. 30Bwe batyo Yowaabu ne Abisaayi muganda we bwe batta Abuneeri, kubanga yali asse muganda waabwe Asakeri e Gibyoni mu lutalo.
31 #
Lub 37:34, 2 Bassek 19:2 Awo Dawudi n'agamba Yowaabu n'abantu bonna abaali naye nti Muyuze engoye zammwe mwesibe ebibukutu mukaabe mu maaso ga Abuneeri. Kabaka Dawudi n'agoberera olunnyo. 32Ne baziika Abuneeri e Kebbulooni: kabaka n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba ku ntaana ya Abuneeri; abantu bonna ne bakaaba amaziga. 33#2 Sam 1:17 Kabaka n'akungubagira Abuneeri n'ayogera nti
Abuneeri yandifudde ng'omusirusiru bw'afa?
34Emikono gyo tegyasibibwa, so n'ebigere byo tebyateekebwa mu masamba:
Ng'omuntu bw'agwa mu maaso g'abaana b'obutali butuukirivu, bwe wagwa bw'otyo.
Abantu bonna ne bamukaabira nate amaziga. 35#2 Sam 1:12; 12:17Abantu bonna ne bajja okuliisa Dawudi emmere obudde nga bukyali misana; naye Dawudi n'alayira ng'ayogera nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kirala kyonna, okutuusa enjuba lw'eneegwa. 36Abantu bonna ne bakitegeera ne kibasanyusa: era nga byonna kabaka bye yakola bwe byasanyusanga abantu bonna. 37Awo abantu bonna ne Isiraeri yenna ne bategeera ku lunaku olwo nga tekyava eri kabaka okutta Abuneeri mutabani wa Neeri. 38Kabaka n'agamba abaddu be nti Temumanyi nga mu Isiraeri mugudde leero omusajja omukulu era ow'ekitiibwa. 39#2 Sam 16:10; 19:22, Zab 28:4, 2 Tim 4:14Nange leero ndi munafu newakubadde nga nfukiddwako amafuta okuba kabaka: n'abasajja bano batabani ba Zeruyiya bannyinze obukakanyavu: Mukama asasule akoze ekibi ng'obubi bwe bwe buli.
Currently Selected:
2 Samwiri 3: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.