2 Samwiri 21
21
1 #
Kos 5:15
Awo ne waba enjala ku mirembe gya Dawudi emyaka esatu buli mwaka nga guddirira gunnaagwo; Dawudi n'anoonya amaaso ga Mukama. Mukama n'ayogera nti Lwa Sawulo na lwa nnyumba ye ey'omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni. 2#Yos 9:3-17Kabaka n'ayita Abagibyoni n'abagamba: (era Abagibyoni tebaali ba ku baana ba Isiraeri naye ba ku kitundu ekyasigala eky'Abamoli; n'abaana ba Isiraeri baali babalayiridde: Sawulo n'ayagala okubatta ng'akwatiddwa obuggya olw'abaana ba Isiraeri ne Yuda:) 3#1 Sam 26:19Dawudi n'agamba Abagibyoni nti Naabakolera ki? era naatangirira na ki, mulyoke musabire omukisa obusika bwa Mukama? 4Awo Abagibyoni ne bamugamba nti si kigambo kya ffeeza oba zaabu eri ffe ne Sawulo oba nnyumba ye; so tekitusaanira kutta muntu yenna mu Isiraeri. N'ayogera nti Kye munaayogera naakibakolera. 5Ne bagamba kabaka nti Omusajja eyatuzikiriza n'atusalira amagezi, tumalibwewo obutabeera mu nsalo zonna eza Isiraeri, 6#Kubal 25:4, 1 Sam 10:24,26; 11:4baweeyo eri ffe abasajja musanvu ku batabani be, tubawanike eri Mukama mu Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama. Kabaka n'ayogera nti Ndibawaayo. 7#1 Sam 20:15,16,42; 23:18, 2 Sam 9:7Naye kabaka n'asonyiwa Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo, olw'ekirayiro kya Mukama ekyali wakati waabwe, wakati wa Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo. 8#1 Sam 18:19, 2 Sam 3:7Naye kabaka n'atwala batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi, be yazaalira Sawulo, Alumoni ne Mefibosesi: ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo abataano, be yazaalira Aduliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi: 9n'abawaayo mu mikono gy'Abagibyoni, ne babawanikira ku lusozi mu maaso ga Mukama, ne bafiira wamu (bonna) omusanvu: era battibwa mu biro eby'amakungula nga kyebijje bisooke, amakungula ga sayiri nga gatanudde okubaawo. 10Awo Lizupa muwala wa Aya n'addira ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku makungula we gaasookera okutuusa amazzi lwe gabafukibwako agava mu ggulu; n'ataganya nnyonyi za mu bbanga kubagwako emisana newakubadde ensolo ez'omu nsiko ekiro. 11Ne babuulira Dawudi Lizupa muwala wa Aya, omuzaana wa Sawulo, bye yakola. 12#1 Sam 31:10-13, 2 Sam 2:4Dawudi n'agenda n'aggya amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we ku basajja ab'e Yabesugireyaadi, abaali bagabbye mu luguudo olw'e Besusani Abafirisuuti gye baagawanikira ku lunaku Abafirisuuti kwe battira Sawulo e Girubowa: 13n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we; ne bakuŋŋaanya amagumba g'abo abaawanikibwa. 14#2 Sam 24:25, Zab 48:1; 96:4Ne baziika amagumba ga Sawulo ne Yonasaani mutabani we mu nsi ya Benyamini mu Zeera mu ntaana ya Kiisi kitaawe: ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Awo oluvannyuma lw'ebyo Katonda ne yeegayirirwa ensi.
15Awo Abafirisuuti ne balwana nate ne Isiraeri; Dawudi n'aserengeta n'abaddu be wamu naye n'alwana n'Abafirisuuti: Dawudi n'ayongobera. 16Awo Isubibenobu ow'oku baana b'erintu liri, obuzito bw'effumu lye sekeri za kikomo ebikumi bisatu, nga yeesibye (ekitala) ekiggya, n'ayagala okutta Dawudi. 17#2 Sam 18:2,3, 1 Bassek 11:36; 15:4Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'amudduukirira n'afumita Omufirisuuti n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayiyira nga boogera nti Tokyatabaala naffe oleme okuzikiza ettabaaza ya Isiraeri.
18Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu: awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Safu ow'oku baana b'erintu liri. 19#1 Sam 17:7, 2 Sam 23:24Awo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu; awo Erukanani mutabani wa Yaale-olegimu Omubesirekemu n'atta Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋanga omuti ogulukirwako engoye. 20Ne waba nate entalo e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo, eyalina engalo omukaaga ku buli mukono n'obugere omukaaga ku buli kigere, omuwendo gwabyo abiri mu bina; era naye yazaalirwa erintu liri. 21#1 Sam 17:10Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeyi muganda wa Dawudi n'amutta. 22Abo abaana baazaalirwa erintu liri e Gaasi; ne bagwa n'omukono gwa Dawudi n'omukono gw'abaddu be.
Currently Selected:
2 Samwiri 21: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.