2 Samwiri 10
10
1 #
1 Byom 19:1-19
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, Kanuni mutabani we n'afuga mu kifo kye. 2Dawudi n'ayogera nti Naakola Kanuni mutabani wa Nakasi eby'ekisa, nga kitaawe bwe yankola eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma abaddu be okumukubagiza olwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne batuuka mu nsi ey'abaana ba Amoni. 3#2 Sam 3:25Naye abakulu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti Olowooza nga Dawudi amussaamu ekitiibwa kitaawo n'akutumira ab'okukukubagiza? Dawudi takutumidde baddu be okukebera ekibuga n'okukiketta n'okukimenya? 4Awo Kanuni n'atwala abaddu ba Dawudi n'abamwako ekitundu ky'ebirevu byabwe n'abasalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku matako gaabwe, n'abasindika. 5Awo bwe baakibuulira Dawudi, n'atuma okubasisinkana; kubanga abasajja abo ne bakwatibwa nnyo ensonyi. Kabaka n'ayogera nti Mubeere e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula, mulyoke mukomewo. 6#Yos 13:11,13, Balam 1:3; 18:28, 2 Sam 8:3Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Dawudi ng'abatamiddwa, abaana ba Amoni ne batuma ne bagulirira Abasuuli ab'e Besulekobu, n'Abasuuli ab'e Zoba, abaatambula n'ebigere obukumi bubiri, ne kabaka w'e Maaka ng'alina abasajja lukumi, n'abasajja ab'e Tobu abasajja kakumi mu enkumi bbiri. 7#2 Sam 23:8Awo Dawudi bwe yakiwulira, n'atuma Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi. 8Awo abaana ba Amoni ne bafuluma ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu mulyango: n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasajja ab'e Tobu ne Maaka baali bokka ku ttale. 9Awo Yowaabu bwe yalaba olutalo nga luli mu maaso ge n'ennyuma we, n'ayawulamu abasajja bonna aba Isiraeri abalonde n'abasimba ennyiriri okwolekera Abasuuli: 10abantu bonna abalala n'abakwasa mu mukono gwa Abisaayi muganda we, n'abasimba ennyiriri okwolekera abaana ba Amoni. 11N'ayogera nti Abasuuli bwe banannema, kale ggwe onombeera: naye abaana ba Amoni bwe banaakulema, kale najja ne nkuyamba. 12#1 Sam 3:18, 1 Kol 16:13Ddamu amaanyi twerage obusajja olw'abantu baffe n'olw'ebibuga bya Katonda waffe: era Mukama akole nga bw'asiima. 13Awo Yowaabu n'abantu abaali naye ne basembera ku lutalo okulwana n'Abasuuli: ne badduka mu maaso ge. 14Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo ne badduka mu maaso ga Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'alyoka ava ku baana ba Amoni n'addayo n'ajja e Yerusaalemi. 15Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne bakuŋŋaana. 16Awo Kadadezeri n'atuma n'aggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga: ne bajja e Keramu, Sobaki omukulu w'eggye lya Kadadezeri ng'abakulembedde. 17Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, n'asomoka Yoludaani n'ajja e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi ne balwana naye. 18Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali lusanvu, n'abeebagala embalaasi obukumi buna, n'afumita Sobaki omukulu w'eggye lyabwe n'afiira eyo. 19Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Isiraeri, ne babaweereza. Awo Abasuuli ne batya okweyongera nate okuyamba abaana ba Amoni.
Currently Selected:
2 Samwiri 10: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.