YouVersion Logo
Search Icon

2 Abakkolinso 2

2
1 # 2 Kol 12:21, 1 Kol 4:21 Naye kino nnakimalirira mu mwoyo gwange, obutajja nate na nnaku gye muli. 2Kubanga nze bwe mbanakuwaza, kale ansanyusa ye ani wabula oyo nze gwe nnakuwaza? 3N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja abo baleme okunnakuwaza abagwanira okunsanyusa; kubanga nneesiga mmwe mwenna, ng'essanyu lyange lye lyammwe mwenna. 4#Bik 20:31Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina eri mmwe bwe kuli okungi ennyo.
5 # 1 Kol 5:1 Naye omuntu bw'aba annakuwazizza, aba tanakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okuzitowa ennyo. 6Kunaamumala ali bw'atyo okubonerezebwa okwo okw'abangi; 7kyekivudde kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa ennaku ze nga ziyinze obungi. 8Kyenva mbeegayirira okunyweza okwagala eri oyo. 9#2 Kol 7:15Kubanga era kyennava mpandiika, ndyoke ntegeere okukemebwa kwammwe, oba nga muwulira mu bigambo byonna. 10#Luk 10:16Naye gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye nsonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo; 11#Luk 22:31Setaani alemenga kutwekulumbalizaako: kubanga tetuli ng'abatategeera nkwe ze.
12 # 2:12 Bik 14:27, 1 Kol 16:9 Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe, 13#Bik 20:1ssaalaba kuwummula mu mwoyo gwange, olw'obutasanga Tito muganda wange: naye ne mbasiibula ne ŋŋenda mu Makedoni. 14Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawangulwa mu Kristo, n'atubikkuza evvumbe ery'okumutegeera ye mu buli kifo. 15#1 Kol 1:18Kubanga tuli vvumbe ddungi erya Kristo eri Katonda mu abo abalokoka ne mu abo ababula; 16#2 Kol 3:5,6, Luk 2:34eri abo ababula tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri bali tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza? 17#2 Kol 1:12, 1 Peet 4:11Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi b'ekigambo kya Katonda: naye olw'amazima, naye olwa Katonda, mu maaso ga Katonda, bwe tutyo bwe twogera mu Kristo.

Currently Selected:

2 Abakkolinso 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy