YouVersion Logo
Search Icon

2 Ebyomumirembe 1

1
1 # 1 Bassek 2:46, 1 Byom 29:25 Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, Mukama Katonda we n'aba naye, n'amugulumiza nnyo. 2#1 Byom 27:1Sulemaani n'ayogera ne Isiraeri yenna, abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abalamuzi na buli mukulu mu Isiraeri yenna, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe. 3#Kuv 29:42,43; 33:7, 1 Bassek 3:4, 1 Byom 21:29Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna wamu naye ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakola mu ddungu. 4#1 Byom 15:1; 15:25—16:1Naye essanduuko ya Katonda Dawudi yali agirinnyisizza n'agiggya e Kiriyasuyalimu n'agireeta mu kifo Dawudi kye yagitegekera: kubanga yali agikubidde eweema e Yerusaalemi. 5#Kuv 31:2; 38:1,2, 1 Byom 16:39Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleri mutabani wa Uli mutabani wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama: Sulemaani n'ekibiina ne bagendanga gye kiri. 6#1 Bassek 3:4Sulemaani n'ayambukayo eri ekyoto eky'ekikomo mu maaso ga Mukama ekyali ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
7 # 1 Bassek 3:5-13 Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Sulemaani, n'amugamba nti Saba kye mba nkuwa. 8#1 Byom 28:5Sulemaani n'agamba Katonda nti Walaga Dawudi kitange ekisa kingi, n'onfuula kabaka mu kifo kye. 9#Lub 13:16, 1 Bassek 8:26Kale, ai Mukama Katonda, ekigambo kye wasuubiza Dawudi kitange kinywezebwe: kubanga onfudde kabaka w'abantu abafaanana enfuufu ey'oku nsi obungi. 10#Yak 1:5Mpa nno amagezi n'okumanya, nfulumenga nnyingirenga mu maaso g'abantu bano: kubanga ani ayinza okusalira emisango abantu bo bano abenkanidde awo obukulu? 11Katonda n'agamba Sulemaani nti Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, so tosabye bugagga, ebintu, newakubadde ekitiibwa, newakubadde obulamu bw'abo abakukyawa, so tosabye kuwangaala; naye weesabidde amagezi n'okumanya, osalirenga emisango abantu bange, be nkufuulidde kabaka: 12#1 Byom 29:25, Mub 5:19; 6:2, Mat 6:33amagezi n'okumanya oweereddwa; era ndikuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa by'atabanga nabyo n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba oluvannyuma lwo aliba nabyo. 13Awo Sulemaani n'ava ku lugendo lwe n'ajja eri ekifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni, ng'ava mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ajja e Yerusaalemi; n'afuga Isiraeri.
14 # 1 Bassek 10:26-29, 2 Byom 9:25-28 Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi: era yalina amagaali lukumi mu bina n'abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi. 15Kabaka n'afuula ffeeza ne zaabu mu Yerusaalemi okuba ng'amayinja obungi, okuba ng'amayinja, n'emivule yagifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu nsenyi obungi. 16Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri; abasuubuzi ba kabaka ne baziweebwanga bisibo, buli kisibo n'omuwendo gwakyo. 17Era eggaali baalikimanga nga baliggya mu Misiri nga lijjirira (sekeri) lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bassekabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bassekabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe.

Currently Selected:

2 Ebyomumirembe 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy