Bible App logo
Search Icon

1 Abasessaloniika 4

4
1 # 2 Bas 3:6 Kale, ab'oluganda, ebisigaddeyo, tubeegayirira tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwaweebwa ffe bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula, okweyongerangako nate. 2Kubanga mumanyi ebiragiro bwe biri bye twabalagira ku bwa Mukama waffe Yesu. 3#1 Bas 5:23, Beb 10:10, 1 Peet 1:16Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi; 4buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa, 5#Baf 2:16, Zab 79:6si mu mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda; 6#Bik 18:5alemenga okuyingirira muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo: kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okutegeereza ddala. 7#2 Bas 2:13,14Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula mu butukuvu. 8#Luk 10:16, Ez 36:27; 37:14Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo gwe Omutukuvu.
9 # Yok 13:34, Yer 31:33,34 Naye okuwandiikirwa ku by'okwagalanga ab'oluganda okwo temukwetaaga: kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga; 10#2 Bas 3:4kubanga n'okukola mukola bwe mutyo ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira; 11era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira;#Bef 4:28, 2 Bas 3:8,12 12#Bak 4:5, 1 Kol 5:12,13mulyoke mutambulirenga mu mpisa ennungi eri ab'ebweru, nga temuliiko kye mwetaaga.
13 # 1 Kol 15:20, Bef 2:12 Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi. 14#Bar 4:9, 1 Kol 15:3,4,12Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alireeta bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye. 15#1 Kol 15:51; 7:10,25Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka. 16#1 Kol 15:52, 2 Bas 1:7Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira: 17#Yok 12:26; 17:24naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 18Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino.

Currently Selected:

1 Abasessaloniika 4: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in