1 Abasessaloniika 3
3
1 #
Bik 17:14,15 Kyetwava tusiima okulekebwa ennyuma fekka mu Asene, bwe tutaayinza kugumiikiriza nate; 2#Bik 16:1-3ne tutuma Timoseewo muganda waffe era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanyweza n'okubasanyusa olw'okukkiriza kwammwe; 3#Bef 3:13, 2 Tim 3:12, 2 Bas 1:4omuntu yenna aleme okusagaasagana mu kubonaabona kuno; kubanga mwekka mumanyi ng'ekyo kye twateekerwawo. 4#2 Bas 3:10, Bik 14:22Kubanga mazima, bwe twali gye muli, twababuulira olubereberye nga tugenda okubonaabona; era bwe kyali bwe kityo era nga bwe mumanyi. 5#Baf 2:16Nange kyennava ntuma, bwe ssaayinza kugumiikiriza nate, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe, oba nga mpozzi omukemi oyo yabakema okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere. 6#Bik 18:5Naye Timoseewo kaakano bwe yajja gye tuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebirungi eby'okukkiriza n'okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi ennaku zonna, nga mutulumirwa okutulaba, era nga ffe bwe tubalumirwa mmwe; 7#2 Bas 1:4kyetwava tusanyusibwa, ab'oluganda, ku lwammwe mu kulaba ennaku n'okubonaabona kwaffe kwonna olw'okukkiriza kwammwe: 8kubanga kaakano tuli balamu, mmwe bwe muyimirira mu Mukama waffe. 9Kubanga kwebaza ki kwe tuyinza okusasula Katonda ku lwammwe, olw'essanyu lyonna lye tusanyuka ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe; 10emisana n'ekiro nga tusaba nnyo nnyini okulaba ku maaso gammwe, n'okutuukiriza ebitatuuka mu kukkiriza kwammwe?
11 #
2 Bas 2:16
Naye katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu agolole ekkubo lyaffe okujja gye muli: 12nammwe Mukama waffe abongerengako abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka n'eri bonna, era nga naffe eri mmwe; 13#Baf 1:10, 2 Bas 1:7,10alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna.
Currently Selected:
1 Abasessaloniika 3: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.