YouVersion Logo
Search Icon

1 Abasessaloniika 2

2
1 # 1 Bas 1:5,9, 2 Bas 3:7 Kubanga mmwe mwekka, ab'oluganda, mumanyi ng'okuyingira kwaffe gye muli tekwali kwa bwereere: 2#Bik 16:20-24; 17:1-5naye bwe twamala okubonaabona n'okugirirwa ekyejo mu Firipi, nga bwe mumanyi, ne tugumira mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kufuba okungi. 3Kubanga okubuulirira kwaffe si kwa bulimba, so si kwa bugwagwa, so si mu bukuusa: 4#Yer 11:20, Bag 1:10, 1 Tim 1:11naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda okuteresebwa enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng'abaagala okusiimibwa abantu, wabula Katonda akema emitima gyaffe. 5#Bik 20:33, Mak 12:40, 2 Peet 2:3Kubanga tetubeeranga na kigambo eky'okwegonza, nga bwe mumanyi, newakubadde n'ensonga ey'okukisa okwegomba, Katonda ye mujulirwa; 6#Yok 5:41,44newakubadde nga tunoonya ekitiibwa eri abantu, newakubadde eri mmwe, newakubadde eri abalala, twandiyinzizza okubazitoowerera, ng'abatume ba Kristo. 7Naye twali bawombeefu mu mmwe, ng'omulezi bw'ajjanjaba abaana be ye: 8bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo, ne tusiima okubagabira, si njiri ya Katonda yokka, era naye n'emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo. 9#1 Kol 4:12, Bik 20:34Kubanga mujjukira, ab'oluganda, okufuba kwaffe n'okutegana: bwe twakolanga emirimu emisana n'ekiro, obutazitoowereranga muntu yenna ku mmwe, ne tubabuuliranga enjiri ya Katonda. 10Mmwe bajulirwa era ne Katonda, bwe twabanga n'obutukuvu n'obutuukirivu awatali kunenyezebwa eri mmwe abakkiriza: 11#Bik 20:31nga bwe mumanyi ffe bwe twali eri buli muntu ku mmwe, nga kitaabwe bw'aba eri abaana be, nga tubabuulirira era nga tubagumya emyoyo era nga tutegeeza, 12#Bef 4:1, Baf 1:27, 2 Bas 1:5, 1 Peet 5:10mulyoke mutambulenga nga bwe kisaanira Katonda abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye n'ekitiibwa.
13 # 1 Bas 1:2, Bag 1:11, 2 Bas 2:13 Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwaweebwa ffe ekigambo eky'okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda, n'okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza. 14Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwagoberera ekkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu: kubanga nammwe mwabonyaabonyezebwa bwe mutyo ab'eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya; 15#Bik 2:23; 7:52abatta Mukama waffe Yesu ne bannabbi, era abaatugoba, so tebasiimibwa Katonda, era balabe ba bantu bonna; 16#Lub 15:16, Mat 23:32,33nga batuziyiza okubuulira ab'amawanga balyoke balokoke; okutuukiriza ebibi byabwe ennaku zonna, naye obusungu bubatuuseeko obumalira ddala.
17 # Bar 1:11,13 Naye ffe, ab'oluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono, mu maaso si mu mutima, tweyongera nnyo okufuba okubalaba mu maaso gammwe n'okubalumirwa ennyo omwoyo: 18kubanga twayagala okujja gye muli, nze Pawulo omulundi ogw'olubereberye era n'ogw'okubiri; Setaani n'atuziyiza. 19#Baf 2:16; 4:1, 2 Bas 1:4Kubanga essuubi lyaffe ki oba ssanyu oba ngule ey'okwenyumiriza? Bwe mutaba mmwe, mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe? 20Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe n'essanyu.

Currently Selected:

1 Abasessaloniika 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy