YouVersion Logo
Search Icon

1 Samwiri 26

26
1 # 1 Sam 23:19 Awo ab'e Zifu ne bajja eri Sawulo e Gibeya nga boogera nti Dawudi teyeekweka ku lusozi Kakira olwolekera eddungu? 2#1 Sam 23:14; 24:2Awo Sawulo n'agolokoka n'aserengeta n'agenda mu ddungu ery'e Zifu, ng'alina abasajja abalonde aba Isiraeri enkumi ssatu wamu naye, okunoonya Dawudi mu ddungu ery'e Zifu. 3Sawulo n'asiisira ku lusozi Kakira, olwolekera eddungu, mu kkubo. Naye Dawudi n'abeera mu ddungu n'alaba nga Sawulo atuuse mu ddungu ng'amugoberera. 4Dawudi kyeyava atuma abakessi n'ategeera nga Sawulo atuukidde ddala. 5#1 Sam 14:50; 17:20,55Dawudi n'agolokoka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde: Dawudi n'alaba ekifo Sawulo we yagalamira, ne Abuneeri mutabaani wa Neeri, omukulu w'eggye lye: era Sawulo yali agalamidde munda w'ekifo eky'amagaali, abantu ne basiisira okumwetooloola. 6#Balam 7:9-11, 2 Sam 2:18, 1 Byom 2:16Awo Dawudi n'addamu n'agamba Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, ng'ayogera nti Ani anaaserengeta nange n'agenda eri Sawulo mu lusiisira? Abisaayi n'ayogera nti Nze naaserengeta naawe. 7Awo Dawudi ne Abisaayi ne bajja eri abantu ekiro: awo, laba, Sawulo ng'agalamidde nga yeebase munda w'ekifo eky'amagaali, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka ku mutwe gwe: ne Abuneeri n'abantu nga bagalamidde okumwetooloola. 8#1 Sam 24:4Awo Abisaayi n'agamba Dawudi nti Katonda agabulidde ddala omulabe wo mu mukono gwo leero: kale nno, nkwegayiridde, mmufumite n'effumu okukwasa n'ettaka omulundi gumu so siimufumite gwa kubiri. 9#1 Sam 24:6,10; 26:16,23; 31:4, 2 Sam 1:16Dawudi n'agamba Abisaayi nti Tomuzikiriza: kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta n'aba nga taliiko musango? 10#26:10 Lub 47:29, Ma 31:14, Luus 3:13, 1 Sam 25:38; 31:6Dawudi n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ye alimutta; oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo n'azikirira. 11#1 Sam 24:6; 26:16Mukama akiddize eri nze okugolola omukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta: naye nno twala, nkwegayiridde, effumu eriri ku mutwe gwe n'ensumbi y'amazzi tugende. 12#Lub 2:21; 15:12Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya ku mutwe gwa Sawulo; ne beddirayo so nga tewali muntu akirabye newakubadde akimanyi, so nga tewali azuukuse: kubanga bonna nga beebase; kubanga otulo tungi otwava eri Mukama twali tubaguddeko. 13Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri, n'ayimirira wala ku ntikko y'olusozi; nga yeesuddeko nabo ebbanga ddene: 14Dawudi n'alangiriza abantu ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng'ayogera nti Toddamu, Abuneeri? Awo Abuneeri n'addamu n'ayogera nti Ggwe ani akoowoola kabaka? 15Dawudi n'agamba Abuneeri nti Toli muzira? era ani akwenkana mu Isiraeri? kale kiki ekikulobedde okukuuma mukama wo kabaka? kubanga muyingidde omu ku bantu okuzikiriza kabaka mukama wo. 16#1 Sam 26:7,11, 2 Sam 12:5, 1 Bassek 2:26Ekigambo kino ky'okoze si kirungi. Nga Mukama bw'ali omulamu, musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Era nno mulabe effumu lya kabaka gye liri n'ensumbi y'amazzi ebadde ku kigugu kye eky'emitwetwe. 17#1 Sam 24:16Sawulo n'amanya eddoboozi lya Dawudi n'ayogera nti Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi? Dawudi n'ayogera nti Lye ddoboozi lyange, mukama wange, ai kabaka. 18#1 Sam 24:9,11N'ayogera nti Mukama wange ayigganyiza ki omuddu we? kubanga nkoze ki? oba kibi ki ekiri mu mukono gwange? 19#Lub 8:21, Leev 26:31, 1 Sam 10:1, 1 Sam 14:16, 1 Bassek 8:53, 2 Bassek 5:17Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama oba nga ye yakumpeerera, akkirize ekiweebwayo: naye oba nga be baana b'abantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga bangobye leero nneme okwegatta n'obusika bwa Mukama nga boogera nti Genda oweereze bakatonda abalala. 20#1 Sam 24:14, Kos 9:3Kale nno omusaayi gwange guleme okutonnya wansi Mukama gy'atabeera: kubanga kabaka wa Isiraeri atabadde okunoonya enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi. 21#1 Sam 15:24; 24:17,18Awo Sawulo n'ayogera nti Nnyonoonye: komawo, mwana wange Dawudi: kubanga siryeyongera kukukola kabi nate, kubanga obulamu bwange bubadde bwa muwendo mungi mu maaso go leero: laba, nasiruwala ne nkyama nnyo nnyini. 22#1 Sam 26:12Dawudi n'addamu n'ayogera nti Laba effumu, ai kabaka! kale omu ku balenzi ajje aliddukire. 23#1 Sam 26:9, Zab 7:8; 18:20Era Mukama alisasula buli muntu obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe: kubanga Mukama akugabudde mu mukono gwange leero, ne ssikkiriza kugolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta. 24Era, laba, ng'obulamu bwo bwe bubadde obw'omuwendo omungi mu maaso gange leero, obulamu bwange bubeere bwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama, andokole mu kulaba ennaku kwonna. 25#1 Sam 24:20 Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti Oweebwe omukisa, mwana wange Dawudi: olikola eby'amaanyi era tolirema kuwangula. Awo Dawudi n'agenda, Sawulo n'addayo mu kifo kye.

Currently Selected:

1 Samwiri 26: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in