1 Samwiri 22
22
1 #
2 Sam 23:13, Mi 1:15 Dawudi kyeyava avaayo, n'adduka n'atuuka ku mpuku ya Adulamu: awo baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna bwe baakiwulira, ne baserengeta ne bagendayo gy'ali. 2#Balam 11:3Awo buli muntu eyali alaba ennaku na buli muntu eyalina ebbanja na buli eyalina obuyinike, ne bakuŋŋaana gy'ali; n'afuuka omukulu waabwe: awo ne waba naye abasajja nga bikumi bina.
3 #
Luus 4:10
Awo Dawudi n'avaayo n'agenda e Mizupe ekya Mowaabu: n'agamba kabaka wa Mowaabu nti Kitange ne mmange bafulume babe nammwe, okutuusa lwe ndimanya Katonda by'alinkolera. 4Awo n'abaleeta mu maaso ga kabaka wa Mowaabu: ne batuula naye ekiseera kyonna Dawudi ng'akyali mu mpuku. 5#2 Sam 24:11,18,19, 1 Byom 29:29, 2 Byom 29:25Awo nnabbi Gaadi n'agamba Dawudi nti Tobeera mu mpuku; genda, otuuke mu nsi ya Yuda. Awo Dawudi n'agenda n'atuuka mu kibira Keresi.
6 #
1 Sam 14:2; 15:34 Awo Sawulo n'awulira nga Dawudi alabise n'abasajja abaali naye: era Sawulo yali atudde e Gibeya, munda w'omumyuliru mu Laama, ng'akutte effumu lye mu ngalo, n'abaddu be bonna baali bayimiridde okumwetooloola. 7#1 Sam 8:14Sawulo n'agamba abaddu be abaali bayimiridde okumwetooloola nti Muwulire nno, mmwe Ababenyamini; mutabani wa Yese aliwa buli muntu ku mmwe ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu, alibafuula mwenna okuba abaami b'enkumi era abaami b'ebikumi; 8#1 Sam 18:3; 22:13mwenna ne muneekobaana, so tewali ambikkulira mutabani wange bw'alagaana endagaano ne mutabani wa Yese, so tewali ku mmwe ansaasidde, newakubadde antegeeza nga mutabani wange yampererera omuddu wange okuteega nga leero? 9#1 Sam 14:3; 21:1,7Awo Dowegi Omwedomu, eyayimirira awali abaddu ba Sawulo, n'alyoka addamu n'ayogera nti Nalaba mutabani wa Yese ng'ajja e Nobu, eri Akimereki mutabani wa Akitubu. 10#Kubal 27:21, 1 Sam 21:6,9N'amubuuliza eri Mukama n'amuwa ebyokulya n'amuwa ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti. 11Awo kabaka n'alyoka atuma okuyita Akimereki kabona, mutabani wa Akitubu, n'ennyumba yonna eya kitaawe, bakabona abaali e Nobu: ne bajja bonna eri kabaka. 12Sawulo n'ayogera nti Wulira nno, ggwe mutabani wa Akitubu. N'addamu nti Nze nzuuno, mukama wange. 13Sawulo n'amugamba nti Mwanneekobaanira ki ggwe ne mutabani wa Yese, kubanga wamuwa emigaati n'ekitala, n'omubuuliza eri Katonda, angolokokereko, okuteega nga leero? 14#1 Sam 18:5,27; 20:25Awo Akimereki n'addamu kabaka n'ayogera nti Era ani ku baddu bo bonna amwenkana Dawudi obwesigwa, ye mukoddomi wa kabaka, era ayingizibwa mu kuteesa kwo era ow'ekitiibwa mu nnyumba yo? 15Nsoose leero okumubuuliza eri Katonda? kiddire eri: kabaka aleme okussaako omuddu we ekigambo kyonna, newakubadde ennyumba ya kitange yonna: kubanga omuddu wo taliiko ky'amanyi ku bino byonna, newakubadde ebitono newakubadde ebingi. 16Kabaka n'ayogera nti Tooleme kufa, Akimereki, ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna. 17#1 Bassek 10:25Awo kabaka n'agamba abambowa abaali bayimiridde okumwetooloola nti Mukyuke mutte bakabona ba Mukama; kubanga n'omukono gwabwe guli ne Dawudi, era kubanga baamanya nga yadduka, ne batakimbikkulira. Naye abaddu ba kabaka ne bagaana okussaawo omukono gwabwe okugwa ku bakabona ba Mukama. 18#1 Sam 2:28,31Awo kabaka n'agamba Dowegi nti Kyuka ggwe obagweko bakabona. Awo Dowegi Omwedomu n'akyuka n'agwa ku bakabona, n'atta ku lunaku olwo abantu kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu eya bafuta. 19#1 Sam 15:3Ne Nobu, ekibuga kya bakabona, n'akitta n'obwogi bw'ekitala, abasajja era n'abakazi, abaana abato n'abayonka, n'ente n'endogoyi n'endiga, n'obwogi bw'ekitala. 20Awo omwana omu owa Akimereki, mutabani wa Akitubu, erinnya lye Abiyasaali, n'awona n'adduka okugoberera Dawudi. 21Abiyasaali n'abuulira Dawudi Sawulo ng'asse bakabona ba Mukama. 22#1 Sam 21:7Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali nti Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga talirema kumubuulira Sawulo: nze nassa abantu bonna ab'omu nnyumba ya kitaawo. 23#2 Sam 20:25, 1 Bassek 2:26Ggwe beera nange, totya; kubanga oyo anoonya obulamu bwange anoonya obulamu bwo: kubanga awali nze onoobanga mirembe.
Currently Selected:
1 Samwiri 22: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.