1 Samwiri 19:9-10
1 Samwiri 19:9-10 LUG68
Awo omuzimu omubi ogwava eri Mukama gwali ku Sawulo, ng'atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu lye mu ngalo ze; ne Dawudi ng'akuba ennanga n'engalo ze. Awo Sawulo n'agezaako okufumita Dawudi n'okumukwasa n'ekisenge n'effumu; naye ne yeemulula mu maaso ga Sawulo, n'akuba effumu mu kisenge: Dawudi n'adduka n'awona ekiro ekyo.





