YouVersion Logo
Search Icon

1 Samwiri 1

1
1 # 1 Sam 1:19 Awo waaliwo omusajja ow'e Lamasaimuzofimu, eky'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriku, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufu, Omwefulayimu: 2era yalina abakazi babiri; omu erinnya lye nga ye Kaana, n'omulala erinnya lye nga ye Penina; era Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana. 3#Kuv 23:14, Yos 18:1, 1 Sam 1:21; 4:4, Zab 78:60, Luk 2:41Awo omusajja oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'alinnya okusinza n'okuweerayo mu Siiro ssaddaaka eri Mukama ow'eggye. Ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi, bakabona eri Mukama, baali eyo. 4#Ma 12:17,18Awo olunaku bwe lwatuuka Erukaana kwe yaweerayo ssaddaaka, n'awa emigabo Penina mukazi we ne batabani be ne bawala be: 5naye n'awa Kaana emigabo ebiri: kubanga yamwagala Kaana, naye Mukama yali aggalidde olubuto lwe. 6#Lub 16:4Muggya we n'amusunguwaza nnyo okumweraliikiriza, kubanga Mukama yali aggalidde olubuto lwe. 7Awo musajja we bwe yakolanga bw'atyo buli mwaka, ye bwe yalinnyanga okugenda mu nnyumba ya Mukama, n'amusunguwaza bw'atyo; kyeyava akaaba amaziga n'agaana okulya. 8#Luus 4:15Awo Erukaana musajja we n'amugamba nti Kaana, okaabira ki? kiki ekikulobera okulya? n'omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? nze sisinga baana kkumi gy'oli obulungi? 9#1 Sam 3:3Awo Kaana n'agolokoka nga bamaze okulya mu Siiro, era nga bamaze okunywa. Awo Eri kabona yali ng'atudde ku ntebe ye awaali omufuubeeto ogw'omu yeekaalu ya Mukama. 10#Yob 7:11; 10:1N'omwoyo gwe gwali nga gumuluma, n'asaba Mukama, n'akaaba nnyo amaziga. 11#Lub 28:20; 29:32, Kubal 6:5, Balam 11:30; 13:5; 16:17,28, Luk 1:15,48Ne yeeyama obweyamo n'ayogera nti Ai Mukama ow'eggye, bw'oliba ng'otunuulidde ennaku omuzaana wo z'alabye, n'onjijukira n'oteerabira muzaana wo, naye n'owa omuzaana wo omwana ow'obulenzi, awo ndimuwa Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwe, so n'akamwano tekaliyita ku mutwe gwe. 12Awo olwatuuka, bwe yeeyongera okusaba mu maaso ga Mukama, Eri ne yekkaanya akamwa ke. 13Era Kaana yayogera mu mwoyo gwe; emimwa gye gye gyatoobera, naye eddoboozi lye teryawulikika: Eri kyeyava alowooza nti atamidde. 14Eri n'amugamba nti Olituusa wa okutamiiranga? weggyeeko omwenge gwo. 15#Yob 30:16, Zab 42:4; 62:8, Kung 2:19Kaana n'addamu n'ayogera nti Nedda, mukama wange, nze ndi mukazi alina omwoyo ogunakuwadde: sinywedde mwenge newakubadde ekitamiiza, naye nfuse ebiri mu mmeeme yange mu maaso ga Mukama. 16#Balam 19:22, 1 Sam 2:12, Luk 1:46-55, 1 Sam 2:10, Zab 9:14; 13:5; 75:10; 92:10, Is 61:10Toyita muzaana wo muwala wa Beriali: kubanga mu kwemulugunya kwange okusukkiridde ne mu kunyiiga kwange mwe nnyimye okwogera okutuusa kaakano. 17#Balam 18:6, 1 Sam 20:42, 2 Bassek 5:19, Zab 20:4,5, Luk 7:50; 8:48Awo Eri n'addamu n'ayogera nti Genda mirembe: era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by'omusabye. 18#Lub 33:15, Luus 2:13N'ayogera nti Omuzaana wo alabe ekisa mu maaso go. Awo omukazi ne yeddirayo, n'alya, amaaso ge ne gatatokooterera lwa kubiri. 19#Lub 8:1; 30:22, 1 Sam 1:1,11Awo ne bagolokoka enkya mu makya, ne basinza mu maaso ga Mukama ne baddayo eka, ne batuuka mu nnyumba yaabwe mu Laama: Erukaana n'amanya Kaana mukazi we; Mukama n'amujjukira. 20Awo olwatuuka ebiro bwe byatuuka Kaana n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; n'amutuuma erinnya lye Samwiri, nti Kubanga namusaba eri Mukama. 21#1 Sam 1:3Omusajja Erukaana n'ennyumba ye yonna ne balinnya okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka eri Mukama n'obweyamo bwe. 22#1 Sam 2:11,18; 3:1Naye Kaana n'atalinnya; kubanga yagamba bba nti Sijja kulinnyayo okutuusa omwana lw'aliva ku mabeere, ne ndyoka mmutwala alabike mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna. 23#Kubal 30:7, 2 Sam 7:25Erukaana bba n'amugamba nti Kola nga bw'osiima; beera awo okutuusa lw'olimala okumuggya ku mabeere; kyokka Mukama anyweze ekigambo kye. Awo omukazi n'abeera awo n'ayonsa omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere. 24#Ma 12:5,6,11, Yos 18:1, 1 Sam 1:3,9Awo bwe yamala okumuggya ku mabeere, n'amutwala n'agenda naye n'alinnya, ng'alina ente ssatu, ne efa emu ey'obutta, n'ekita eky'omwenge, n'amutwala mu nnyumba ya Mukama mu Siiro: era omwana yali muto. 25Ne batta ente ne baleetera Eri omwana. 26#1 Sam 17:55; 20:3, 2 Sam 11:11, 2 Bassek 4:30N'amugamba nti Ai mukama wange, nga bw'oli omulamu, mukama wange, nze ndi mukazi oyo eyayimirira w'oli wano, nga nsaba Mukama. 27#1 Sam 1:11, Zab 6:9Omwana ono gwe nnasaba; era Mukama yampa ebyo bye nnamusaba; 28nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu aweereddwayo eri Mukama. Ye n'asinziza Mukama eyo.

Currently Selected:

1 Samwiri 1: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for 1 Samwiri 1