1 Bassekabaka 9
9
1 #
2 Byom 7:11-22, 1 Bassek 7:1, 2 Byom 8:1 Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka n'ebyo byonna Sulemaani bye yayagala bye yasiima okukola, 2#1 Bassek 3:5; 11:9awo Mukama n'alabikira Sulemaani omulundi ogw'okubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni. 3#Ma 11:12, 1 Bassek 8:16,29Awo Mukama n'amugamba nti Mpulidde okusaba kwo n'okwegayirira kwo kw'osabidde mu maaso gange; ntukuzizza ennyumba eno gy'ozimbye okuteeka omwo erinnya lyange emirembe gyonna; n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeerangayo obutayosangawo. 4#Lub 17:1, 1 Bassek 11:38; 15:5Naawe bw'onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga n'omutima ogw'amazima n'obugolokofu okukolanga nga byonna bwe biri bye nnaakulagira, era bw'onookwatanga amateeka gange n'emisango gyange; 5#2 Sam 7:16, 1 Bassek 2:4; 6:12, Zab 132:11,12awo naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo ku Isiraeri emirembe gyonna; nga bwe nnasuubiza Dawudi kitaawo nga njogera nti Tewaakubulenga musajja wa kutuula ku ntebe ya Isiraeri. 6#Zab 89:30,31Naye bwe munaakyukanga obutangoberera nze, mmwe oba baana bammwe, ne mutakwata biragiro byange n'amateeka gange bye nnateeka mu maaso gammwe, naye ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza; 7#Ma 4:26; 28:37, 2 Bassek 17:23, Zab 44:14, Yer 7:14kale ndimalawo Isiraeri mu nsi gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigiggyawo mu maaso gange; kale Isiraeri aliba lugero na kigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna; 8#Ma 29:24-26, Yer 22:8,9era ennyumba eno newakubadde nga mpanvu bw'eti, naye buli anaagiyitangako aneewuunyanga n'asooza; era balyogera nti Mukama kiki ekimukozezza ensi eno bwe kityo n'ennyumba eno? 9Awo baliddamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda waabwe eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza; Mukama kyavudde abaleetako obubi buno bwonna.
10 #
2 Byom 8:1-18, 1 Bassek 6:37,38; 7:1 Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo, Sulemaani mwe yazimbira ennyumba zombi, ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, 11(era Kiramu kabaka w'e Ttuulo yali amulabidde Sulemaani emivule n'emiberosi n'ezaabu nga byonna bwe byali bye yayagala,) awo kabaka Sulemaani n'awa Kiramu ebibuga amakumi abiri mu nsi y'e Ggaliraaya. 12Awo Kiramu n'afuluma mu Ttuulo okulambula ebibuga Sulemaani by'amuwadde: n'atabisiima. 13N'ayogera nti Bibuga ki bino by'ompadde, muganda wange? N'abiyita ensi Kabuli ne leero. 14Awo Kiramu n'aweereza kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri.
15 #
1 Bassek 5:13
Era eno ye nsonga y'okusolooza kabaka Sulemaani kwe yasolooza; okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ne Miiro ne bbugwe wa Yerusaalemi ne Kazoli ne Megiddo ne Gezeri. 16#Yos 16:10, 1 Bassek 3:1; 7:8Falaawo kabaka w'e Misiri yali atabadde n'amenya Gezeri n'akyokya omuliro n'atta Abakanani abatuula mu kibuga n'akiwa muwala we muka Sulemaani okuba omugabo. 17Sulemaani n'azimba Gezeri ne Besukolooni ekya wansi 18ne Baalasi ne Tamali mu ddungu, mu nsi, 19#1 Bassek 4:26; 10:26n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina n'ebibuga eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embalaasi n'ebyo Sulemaani bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi olw'okwesanyusa ne ku Lebanooni ne mu nsi yonna gye yatwala. 20Abantu bonna abaali basigadde ku Bamoli n'Abakiiti n'Abaperizi n'Abakiivi n'Abayebusi abatali ba ku baana ba Isiraeri; 21#Ma 20:16, Balam 1:21,27-29abaana baabwe abaasigala oluvannyuma lwabwe mu nsi abaana ba Isiraeri be bataayinza kuzikiririza ddala, abo Sulemaani be yasoloozaako abaddu ne leero. 22#Leev 25:39Naye Sulemaani teyafuula baddu ku baana ba Isiraeri; naye baabanga basajja balwanyi n'abaweereza be n'abakulu be n'abaami be era abaafuganga amagaali ge n'abasajja be abeebagalanga embalaasi. 23#1 Bassek 5:16Abo be baali abaami abakulu abaalabirira omulimu gwa Sulemaani, ebikumi bitaano mu ataano abaafuganga abantu abaakola omulimu. 24#1 Bassek 3:1; 7:8Naye muwala wa Falaawo n'ava mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka n'ajja mu nnyumba ye Sulemaani gye yali amuzimbidde: awo n'azimba Miiro. 25#Ma 16:16Era Sulemaani n'awangayo emirundi esatu buli mwaka ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, ng'ayotereza obubaane wamu ku kyoto ekyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamala ennyumba.
26 #
1 Bassek 22:48
Awo kabaka Sulemaani n'asibira empingu eya Malikebu e Eziyonigeba ekiriraanye e Erosi ku ttale ly'Ennyanja Emmyufu mu nsi ey'e Edomu. 27#1 Bassek 10:11; 22:48, 1 Byom 29:4Kiramu n'aweerereza mu mpingu abaddu be abalunnyanja abamanyi ennyanja, wamu n'abaddu ba Sulemaani. 28Ne bajja e Ofiri ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu abiri ne bagireeta eri kabaka Sulemaani.
Currently Selected:
1 Bassekabaka 9: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.