YouVersion Logo
Search Icon

1 Bassekabaka 21

21
1 # 1 Bassek 18:45,46 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Nabosi Omuyezuleeri yalina olusuku olw'emizabbibu olwali mu Yezuleeri kumpi n'eriyumba lya Akabu kabaka w'e Samaliya. 2Awo Akabu n'agamba Nabosi nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu mbeere nalwo okuba olusuku lw'enva, kubanga luli kumpi n'ennyumba yange; nange ndikuwa mu kifo kyalwo olusuku olw'emizabbibu olusinga obulungi: oba bw'onoosiima, ndikuwa ebintu ng'omuwendo gwalwo bwe guli. 3#Leev 25:23, Kubal 36:7, Ez 46:18Awo Nabosi n'agamba Akabu nti Mukama akiddize eri gye ndi nkuwe obusika bwa bajjajjange. 4Awo Akabu n'ayingira mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Nabosi Omuyezuleeri ky'amugambye: kubanga ayogedde nti Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange. N'agalamira ku kitanda kye n'akyusa amaaso ge n'atakkiriza kulya ku mmere. 5Naye Yezeberi mukazi we n'ajja gy'ali, n'amugamba nti Kiki ekinakuwazizza omwoyo gwo obwenkanidde awo, n'okulya n'otolya ku mmere? 6N'amugamba nti Kubanga njogedde ne Nabosi Omuyezuleeri ne mmugamba nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu olw'ebintu; oba bw'onoosiima, ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olulala mu kifo kyalwo: n'addamu nti Sijja kukuwa lusuku lwange olw'emizabbibu. 7Yezeberi mukazi we n'amugamba nti Ggwe ofuga nno obwakabaka bwa Isiraeri? golokoka olye ku mmere, omutima gwo gusanyuke: nze ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri. 8#2 Bassek 10:1Awo n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu, n'azissaako akabonero ke, n'aweereza ebbaluwa abakadde n'abakungu abaali mu kibuga kye era abaatuula awali Nabosi. 9N'awandiika mu bbaluwa ng'ayogera nti Mulangire okusiiba, mumuteeke Nabosi waggulu mu bantu: 10#Kuv 22:28, Leev 24:16, Ma 19:15, 2 Sam 16:17, Bik 6:11; 23:5muteeke abasajja babiri aba Beriali mu maaso ge, bamulumirize nga boogera nti Wakolimira Katonda ne kabaka. Mulyoke mumuggyewo, mumukasuukirire amayinja afe. 11Awo abasajja ab'omu kibuga kye abakadde n'abakungu abaabeera mu kibuga kye ne bakola nga Yezeberi bw'abatumidde, nga bwe kyawandiikibwa mu bbaluwa ze yabaweereza. 12#Is 58:4Awo ne balangira okusiiba, ne bamuteeka waggulu Nabosi mu bantu. 13#Bik 7:58Abasajja babiri abaana ba Beriali ne bayingira ne batuula mu maaso ge: abasajja ba Beriali ne bamulumiriza, nga balumiriza Nabosi mu maaso g'abantu, nga boogera nti Nabosi yakolimira Katonda ne kabaka. Awo ne bamuggya mu kibuga, ne bamukasuukirira amayinja n'afa. 14Awo ne batumira Yezeberi nga boogera nti Nabosi akasuukiriddwa amayinja afudde. 15Awo olwatuuka Yezeberi bwe yawulira Nabosi ng'akasuukiriddwa amayinja era ng'afudde, Yezeberi n'agamba Akabu nti Golokoka olye olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri lwe yagaana okukuwa olw'ebintu: kubanga Nabosi takyali mulamu naye afudde. 16Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira Nabosi ng'afudde, awo Akabu n'agolokoka okuserengeta mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri okululya.
17Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera 18#1 Bassek 16:24,29nti Golokoka oserengete okusisinkana ne Akabu kabaka wa Isiraeri atuula mu Samaliya: laba, ali mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi gy'aserengese okululya. 19#1 Bassek 22:38, 2 Bassek 9:26Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Osse era olidde? era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mu kifo embwa mwe zaakombera omusaayi gwa Nabosi, embwa mwe zirikombera omusaayi gwo, weewaawo, ogugwo. 20#1 Bassek 18:17, 2 Bassek 17:17Awo Akabu n'agamba Eriya nti Ondabye, ggwe omulabe wange? N'addamu nti Nkulabye: kubanga weetunze okukola ebiri mu maaso ga Mukama ebibi. 21#1 Bassek 14:10, 2 Bassek 9:8Laba, ndikuleetako akabi, era ndikwerera ddala, era ndimalawo eri Akabu buli mwana ow'obulenzi n'oyo asibiddwa n'atasibiddwa mu Isiraeri: 22#1 Bassek 15:29; 16:3,11era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerubowaamu mutabani wa Nebati n'okufaanana ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya olw'okusunguwaza kwe wansunguwaza n'oyonoonyesa Isiraeri. 23#2 Bassek 9:36Era Mukama n'ayogera ne ku Yezeberi nti Embwa ziririira Yezeberi awali ekigo eky'e Yezuleeri. 24#1 Bassek 14:11; 16:4Owa Akabu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga. 25#1 Bassek 16:30-33(Naye tewali eyafaanana Akabu eyeetunda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi Yezeberi mukazi we gwe yapikiriza. 26#2 Bassek 17:12; 21:11, Am 2:9,10N'akolanga eby'emizizo ennyo ng'agoberera ebifaananyi nga byonna bwe byali Abamoli bye baakolanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.) 27Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu ku mubiri gwe n'asiiba n'agalamira ng'ayambadde ebibukutu n'atambula mpola. 28Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti 29#1 Bassek 11:12, 2 Bassek 9:25Olaba Akabu bwe yeetoowaza mu maaso gange? kubanga yeetoowaza mu maaso gange, sirireeta kabi ako ku mirembe gye: naye ku mirembe gya mutabani we bwe ndireeta akabi ako ku nnyumba ye.

Currently Selected:

1 Bassekabaka 21: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in