YouVersion Logo
Search Icon

1 Bassekabaka 1

1
1 # 1 Byom 23:1 Awo kabaka Dawudi yali mukadde era ng'akootakoota; ne bamubikkako ebyambalo, naye n'atafuna lubugumu. 2Abaddu be kyebaava bamugamba nti Banoonyeze mukama wange kabaka omuwala omuto atamanyi musajja: ayimirirenga mu maaso ga kabaka, amuweereze; era agalamirenga mu kifuba kyo, mukama wange kabaka afune olubugumu. 3Awo ne banoonya omuwala omulungi okubuna ensalo zonna eza Isiraeri, ne balaba Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka. 4Awo omuwala yali mulungi nnyo; n'aweerezanga kabaka n'amujjanjabanga; naye kabaka n'atamumanya. 5#1 Sam 8:11, 2 Sam 3:4; 15:1Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi ne yeegulumiza ng'ayogera nti Nze ndiba kabaka: ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja ataano okuddukiranga mu maaso ge. 6#2 Sam 3:3, 1 Byom 3:2So kitaawe yali tamunyiizanga n'akatono ng'ayogera nti Kiki ekikukozezza bw'otyo? era yali musajja mulungi nnyo; era ye yaddanga ku Abusaalomu. 7#2 Sam 2:18; 20:25N'ateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona: abo ne bamugoberera Adoniya ne bamuyamba. 8#2 Sam 8:18; 12:1; 20:25; 23:8, 1 Bassek 4:18Naye Zadooki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ne Nasani nnabbi ne Simeeyi ne Leeyi n'abasajja ab'amaanyi aba Dawudi tebaali ne Adoniya. 9#Yos 15:7Adoniya n'attira endiga n'ente n'ebya ssava awali ejjinja Zokeresi eririraanye e Enerogeri: n'ayita baganda be bonna abaana ba kabaka, n'abasajja ba Yuda bonna abaddu ba kabaka: 10#2 Sam 12:24naye Nasani nnabbi ne Benaya n'abasajja ab'amaanyi ne Sulemaani muganda we n'atabayita. 11#2 Sam 11:3Awo Nasani n'agamba Basuseba nnyina Sulemaani ng'ayogera nti Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi? 12Kale nno jjangu, nkwegayiridde, nkuwe amagezi, owonye obulamu bwo ggwe n'obulamu bwa mutabani wo Sulemaani. 13#1 Bassek 1:30, 1 Byom 22:9Genda oyingire eri kabaka Dawudi, omugambe nti Mukama wange, ai kabaka, tewalayirira muzaana wo nti Sulemaani mutabani wo talirema kulya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange? kale kiki ekimuliisizza obwakabaka Adoniya? 14Awo, laba, bw'onooba ng'okyayogera eyo ne kabaka, nange naayingira oluvannyuma lwo, ne nnyweza ebigambo byo. 15Awo Basuseba n'ayingira eri kabaka mu kisenge: era kabaka yali mukadde nnyo; ne Abisaagi Omusunammu yaweerezanga kabaka. 16Awo Basuseba n'akutama n'avuunamira kabaka. Kabaka n'ayogera nti Oyagala ki? 17N'amugamba nti Mukama wange, walayira Mukama Katonda wo eri omuzaana wo nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange. 18Kale nno, laba, Adoniya yalidde obwakabaka; naawe, mukama wange kabaka, tokimanyi: 19era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu omukulu w'eggye: naye Sulemaani omuddu wo tamuyise. 20Naawe, mukama wange kabaka, amaaso ga Isiraeri yenna gali ku ggwe obabuulire alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka oluvannyuma lwe. 21#2 Sam 7:12, 1 Bassek 2:10, 1 Sam 10:1, 2 Sam 15:10, 1 Bassek 1:25, 2 Bassek 11:14Bw'otookole bw'otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw'alyebakira awamu ne bajjajjaabe, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa aboonoonyi. 22Kale, laba, bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n'ayingira. 23Ne babuulira kabaka nti Laba, Nasani nnabbi. Awo bwe yayingira mu maaso ga kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka. 24Nasani n'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, wayogera nti Adoniya ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange? 25#2 Sam 16:16Kubanga aserengese leero, era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n'abakulu b'eggye ne Abiyasaali kabona; era, laba, balya era banywera mu maaso ge, nga boogera nti Kabaka Adoniya abeere omulamu. 26Naye nze, nze omuddu wo, ne Zadooki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'omuddu wo Sulemaani tatuyise. 27Ekigambo ekyo kikoleddwa mukama wange kabaka, n'ototegeeza baddu bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka oluvannyuma lwe? 28Awo kabaka Dawudi n'addamu n'agamba nti Mpitira Basuseba. N'ajja awali kabaka n'ayimirira mu maaso ga kabaka. 29#2 Sam 4:9Kabaka n'alayira n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange okugiggya mu kabi konna, 30#1 Bassek 1:13mazima nga bwe nnakulayirira Mukama, Katonda wa Isiraeri, nga njogera nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange mu kifo kyange; mazima bwe ntyo bwe nnaakola leero. 31#Nek 2:3, Dan 2:4Awo Basuseba n'avuunama amaaso ge, ne yeeyanza kabaka, n'ayogera nti Mukama wange kabaka Dawudi abeere omulamu ennaku zonna. 32Kabaka Dawudi n'ayogera nti Mpitira Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada. Ne bajja mu maaso ga kabaka. 33#Es 6:8Kabaka n'abagamba nti Mutwale wamu nammwe abaddu ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange nze, mumuserengese e Gikoni: 34#1 Sam 10:1, 2 Sam 15:10, 1 Bassek 1:25, 2 Bassek 11:14kale Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: mufuuwe ekkondeere mwogere nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu. 35#1 Sam 9:16; 13:14Ne mulyoka mwambuka nga mumugoberera, naye anajja n'atuula ku ntebe yange; kubanga ye anaaba kabaka mu kifo kyange: era mmutaddewo okuba omukulu wa Isiraeri ne Yuda. 36#Yer 28:6Benaya mutabani wa Yekoyaada n'addamu kabaka n'ayogera nti Amiina: Mukama, Katonda wa mukama wange kabaka, ayogere bw'atyo. 37Nga Mukama bwe yabanga ne mukama wange kabaka, era abeerenga ne Sulemaani, afuule entebe ye enkulu okusinga entebe ya mukama wange kabaka Dawudi. 38#2 Sam 8:18, 1 Bassek 1:33Awo Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi ne baserengeta ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya kabaka Dawudi ne bamuleeta e Gikoni. 39#1 Sam 10:1, 2 Sam 6:17, 1 Byom 29:22, Zab 89:20Awo Zadooki kabona n'aggya ejjembe ery'amafuta mu Weema, n'afuka amafuta ku Sulemaani. Ne bafuuwa ekkondeere; abantu bonna ne boogera nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu. 40Abantu bonna ne bambuka okumugoberera, abantu ne bafuuwa endere, ne basanyuka essanyu lingi, ettaka n'okwatika ne lyatika olw'oluyoogaano lwabwe. 41Adoniya n'abagenyi bonna abaali naye ne baluwulira bwe baali nga bamala okulya. Awo Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'ayogera nti Eddoboozi lino ekibuga nga kiyoogaana lya ki? 42#2 Sam 15:27,36; 18:27Bwe yali ng'akyayogera, laba, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n'ajja: Adoniya n'ayogera nti Yingira; kubanga oli musajja mulungi, era oleese ebigambo ebirungi. 43Yonasaani n'addamu n'agamba Adoniya nti Mazima mukama waffe kabaka Dawudi afudde Sulemaani kabaka: 44era kabaka atumye naye Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi, era bamwebagazizza ennyumbu ya kabaka: 45era Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni: era bambuse okuvaayo nga basanyuka n'okuwuuma ekibuga ne kiwuumira ddala. Eryo lye ddoboozi lye muwulidde. 46#1 Byom 29:23Era Sulemaani atudde ku ntebe y'obwakabaka. 47#Lub 47:31, 1 Bassek 1:37Era nate abaddu ba kabaka bazze okusabira mukama waffe kabaka Dawudi nga boogera nti Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani eddungi okusinga erinnya lyo, era afuule entebe ye enkulu okusinga entebe yo: kabaka n'akutamira ku kitanda kye. 48#1 Bassek 3:6, Zab 132:11,12Era bw'ati kabaka bw'ayogedde nti Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, awadde leero ow'okutuula ku ntebe yange, amaaso gange nga gakiraba n'okulaba. 49Awo abagenyi ba Adoniya bonna ne batya, ne bagolokoka, ne bagenda buli muntu ewuwe. 50#Kuv 27:2Adoniya n'atekemuka olwa Sulemaani; n'agolokoka n'agenda n'akwata ku mayembe g'ekyoto. 51Ne babuulira Sulemaani nti Laba, Adoniya atekemukidde kabaka Sulemaani: kubanga, laba, akutte ku mayembe g'ekyoto, ng'ayogera nti Kabaka Sulemaani andayirire leero nga tajja kutta muddu we n'ekitala. 52#1 Sam 14:45, Bik 27:34Sulemaani n'ayogera nti Bw'alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe oluligwa wansi: naye obubi bwe bulirabika ku ye, alifa. 53Awo kabaka Sulemaani n'atuma, ne bamuserengesa okuva ku kyoto. N'ajja n'avuunamira kabaka Sulemaani: Sulemaani n'amugamba nti Genda ewuwo.

Currently Selected:

1 Bassekabaka 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy