YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi Ennyanjula

Ennyanjula
Pawulo Omutukuvu ye yawandiika ebbaluwa eno. Yawandiikibwa wakati w’emyaka ad 48 ne 50. Mu kiseera ekyo Pawulo yali ali mu Kkolinso ku lugendo lwe olwokusatu olw’okubunyisa Enjiri mu Baamawanga. Yali ateekateeka okukyalako e Ruumi, kubanga yali tatuukangayo. Bw’atyo n’awandiika ebbaluwa eno nga yeeyanjula eri Ekkanisa y’omu Ruumi, era ng’annyonnyola mu bimpimpi enjigiriza ye ey’Ekigambo kya Katonda. Mu bbaluwa za Pawulo zonna ze yawandiika, eno y’erowoozebwa nga gye yasinga okutegeka obulungi. Atandika n’okulaga ng’ekibi bwe kyabuna eri buli muntu yenna ku nsi. Abayudaaya n’Abaamawanga tebasaana kusemberera Katonda Omutukuvu, olwokubanga bonna bajjudde ebibi. Abayudaaya tebaagondera Mateeka ga Katonda ge yawa Musa, ate n’Abaamawanga bagaanyi okulowooza ku Katonda. Naye Katonda, olw’okusaasira kwe n’ekisa kye ekingi, yateesa okubaako ky’atukolera. Noolwekyo Katonda atusembeza kubanga tulina okukkiriza mu mwana we Yesu Kristo. Naye tusembezebwa tutya Katonda? Ekyo kye kibuuzo Pawulo ky’addamu mu bbaluwa eno. Newaakubadde nga twali tukyali mu bibi, yatuggulirawo ekkubo eritutuusa gy’ali (5:8). Bw’atyo kaakano Katonda ataddewo ekkubo mwe tuyinza okujja gyali nga tukkiriza Yesu Kristo omwana we omu yekka. Omwo mwe muva obulamu bw’Ekikristaayo obuwanguzi. Pawulo n’alyoka annyonnyola ekifo ky’Abayudaaya mu nteekateeka ya Katonda (9-11). Bw’atyo n’amaliriza n’okubuulirira abantu bonna babeere n’empisa ennungi.

Currently Selected:

Abaruumi Ennyanjula: EEEE

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in