YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kino, Yokaana Omutukuvu Omutume ye yakiwandiika nga mu mwaka ad 96, ng’ali mu buwaŋŋanguse ku kizinga Patumo ekiri mu Nnyanja eya Wakati, ye Meditereniyaani. Yokaana baamuwaŋŋangusiriza ku kizinga kino mu biseera by’okuyigganyizibwa kw’abakkiriza okwali okunene ennyo okwaliwo mu biro ebyo; era n’abeera omukulembeze w’Ekkanisa ku kizinga ekyo. Yokaana bwe yali ng’ali ku kizinga Patumo, Katonda n’amulaga mu kwolesebwa ebiribaawo mu biro ebigenda okujja. Ekitabo kino kiri mu bitundu ebikulu bibiri: Ekisooka, ze bbaluwa eri Ekkanisa omusanvu ez’omu Asiya Entono (kaakano eyitibwa Butuluuki) (1:3), ekyokubiri mwe muli okwolesebwa okw’emirundi emingi nga kufa ku bulamu bw’abantu ba Katonda n’okuyigganyizibwa kwabwe; okuwangulwa kwa Setaani, okudda kwa Kristo, okusala omusango okw’enkomerero, obufuzi bwa Kristo obw’emyaka olukumi, n’eby’omu ggulu (Essuula 4–22). Ekitundu ekisingira ddala obunene mu kwolesebwa kyogera ku bibonoobono ebyayiyibwa ku nsi. Era waliwo n’okwolesebwa kw’abajulizi ba Katonda abattibwa, kaakano abali mu ggulu, n’abatukuvu ba Katonda abayigganyizibwa ku nsi. Ne kuddako okusoomooza okw’enkomerero okwa Malaaya n’ekibuga Babulooni (ye Setaani). Kyogera ne ku buwanguzi bw’Ekigambo kya Katonda, Kabaka wa bakabaka era Mukama w’abakama (19:16), ajja okuzikiriza Setaani n’okuteekerateekera abakkiriza embaga ennene. Olwo ne waddirirawo Yokaana bye yayolesebwa ku kusala kw’omusango okw’enkomerero n’ekitiibwa kya Katonda ekinene. Ekitabo ne kifundikira n’okusaba nti: “Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu” (22:20).

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in