Abafiripi Ennyanjula
Ennyanjula
Omuwandiisi w’ebbaluwa eno ye Pawulo Omutukuvu. Yagiwandiikira Ruumi ng’ali mu busibe, wakati w’emyaka ad 58 ne 64. Yagiwandiikira mikwano gye abaagalwa ennyo abaali mu kibuga Firipi eky’omu Makedoniya (kaakano eyitibwa Buyonaani). Omulamwa gw’ebbaluwa eno bwe bulamu obujjudde emikisa gya Katonda, omuntu bw’afuna nga buyita mu Yesu Kristo. Abeebaza olw’okumuweereza ensimbi ez’okumuyamba mu byetaago bye. Asookera ku kubategeeza nga bw’abeesiga, n’alyoka abamanyisa ebimu ku bizibu by’alina mu Ruumi. Abannyonnyola nti singa afa mu kiseera ekyo, ajja kutenderezanga mu maaso ga Kristo. Era ne bw’asigalawo nga mulamu, ajja kwongera okuweereza Katonda n’amaanyi ge gonna nga bw’asobola. Akuutira Abafiripi okugobereranga obwetoowaze bwa Kristo n’obutakkiririzanga mu bayigiriza ab’obulimba. Waaliwo abakyala babiri abooluganda nga bayombagana, n’abanenya era n’abalagira basonyiwagane. Abakkiriza bonna abakuutira babeerenga bawombeefu, nga bassa kimu, era nga balina amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu; abantu ab’empisa ennungi, abalina emirembe n’essanyu mu buli mbeera yonna, oba nnungi, oba mbi. Kubanga Katonda anaabawanga byonna bye beetaaga mu bulamu bwabwe.
Currently Selected:
Abafiripi Ennyanjula: EEEE
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.
Luganda Contemporary Bible
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.