YouVersion Logo
Search Icon

Okubala Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kino kiyitibwa ekitabo kya Musa, Okubala. Kijjudde ebiwandiiko bingi ebyawandiikibwa abantu abawerako naye ng’omukuŋŋaanya tategeerekeka. Ebiri mu kitabo kino byatandika okukuŋŋaanyizibwa mu kyasa eky’ekkumi n’ebisatu (13) bc, ne bikomekkerezebwa oluvannyuma lw’okuva mu buwaŋŋanguse bw’e Babulooni mu 587 okutuuka 538 bc. Ekitabo kino Okubala, kyogera ku kubalibwa kw’abantu okw’enjawulo. Ebiri mu kitabo kino byonna byabeererawo mu ddungu. Kyogera ne ku bukulembeze bwa Musa mu ddungu ng’aluŋŋamizibwa Katonda. Omulamwa gw’ekitabo kino, be bantu okuba abatukuvu, era abawulize. Kyogera ne ku bwesigwa bwa Katonda eri abantu be newaakubadde nga baalina obunafu mu kutambulira awamu ne Mukama. Kyawulibwamu ebitundu bino: Isirayiri beeteekerateekera okuva e Sinaayi okulaga mu Kanani (Essuula 1–10); Isirayiri bava e Sinaayi okulaga e Kadesibaneya (Essuula 10–12); Isirayiri balwa e Kadesibaneya olw’obujeemu bwabwe (Essuula 13–20); Isirayiri bava e Kadesibaneya okulaga mu nsenyi za Mowaabu (Essuula 20–22); Abayisirayiri balindiririra mu nsenyi za Mowaabu okuyingira mu Kanani (Essuula 22–32); n’ensonga endala ezitali zimu (Essuula 33–36).

Currently Selected:

Okubala Ennyanjula: EEEE

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in