YouVersion Logo
Search Icon

Matayo Ennyanjula

Ennyanjula
Matayo yali musolooza wa musolo. Omulimu guno gwali gunyoomebwa nnyo, kubanga mu biseera ebyo abasolooza b’omusolo abasinga obungi tebaalina mazima, era nga tebaagalibwa. Mukama waffe Yesu Kristo bwe yali nga yaakatandika emirimu gye egy’oku nsi n’ayita Matayo amugoberere. Noolwekyo, Matayo, ebisinga obungi mu ebyo by’annyonnyola mu Njiri eno yabirabirako ddala n’amaaso ge. Yagiwandiika nga waakayitawo ebbanga ttono Kristo ng’amaze okulinnya mu ggulu. Matayo atutegeeza nga Yesu bwe yatuukiriza eby’obunnabbi byonna ebiri mu Ndagaano Enkadde. Asooka kunnyonnyola mu bujjuvu amazaalibwa ga Yesu, ng’azaalibwa Maliyamu eyali tamanyi musajja. N’azzaako okubatizibwa kwa Yesu era n’okukemebwa Setaani mu ddungu. Omulamwa gw’Enjiri eno bwe Bwakabaka bwa Katonda era n’okuyigiriza kwa Mukama waffe ku nsonga eyo. Okubuulira kwa Mukama waffe ku Lusozi olwatiikirivu ennyo, kuli mu Njiri eno. Matayo amaliriza Enjiri eno ng’ategeeza okufa kwa Yesu era n’okuzuukira kwe, awamu n’ekiragiro kya Mukama waffe ekikulu eri abayigirizwa be ng’amaze okuzuukira nti bagende mu nsi yonna babuulire abantu bonna Enjiri ya Yesu Kristo.

Currently Selected:

Matayo Ennyanjula: EEEE

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy