YouVersion Logo
Search Icon

Yuda Ennyanjula

Ennyanjula
Ebbaluwa eno eyawandiikirwa ekkanisa zonna, Yuda Omutukuvu muganda wa Yakobo Omutukuvu (omuwandiisi w’ebbaluwa ya Yakobo) ye yagiwandiika. Yagiwandiika wakati w’emyaka ad 68 ne 80. Akuutira abakkiriza baleme kuwuliriza ebyo eby’abayigiriza ab’obulimba abaleeta enjigiriza enkyamu, wabula banywerere ku mazima. Abajjukiza ng’edda, Katonda yabonereza abaakolanga ebibi. Abategeeza okuzikirira okulituuka ku bayigiriza abo ab’obulimba. Yuda afundikira ng’ayongera okukuutira Abakristaayo banywerere mu maanyi ga Katonda, kubanga y’atuwanirira n’atuziyiza okugwa.

Currently Selected:

Yuda Ennyanjula: EEEE

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in