Abaggalatiya Ennyanjula
Ennyanjula
Mu bbaluwa za Pawulo Omutukuvu zonna, eno gye yasookerako okuwandiika. Yagiwandiika wakati w’emyaka ad 48 ne 50. Okufaanana n’ebbaluwa za Pawulo endala zonna, ebbaluwa eno nayo yawandiikibwa ng’ebitabo by’Enjiri tebinnawandiikibwa. Noolwekyo byonna Pawulo bye yayogeranga ku kuyigiriza kwa Yesu, yabiggyanga ku kumanya kwe, kwe yali amanyi Yesu, ne mu ebyo bye yategeezebwa bali abaatambulanga ne Mukama waffe (1:18-19). Pawulo yalina mu mutima gwe Enjiri etaali mpandiike eyali emwolesebbwa Mukama waffe Yesu Kristo (1:12). Pawulo yali amaze okugibuulirako mu Ggalatiya bwe yali ku lugendo lwe olw’olubereberye olw’okubunyisa Enjiri mu baamawanga (Bik 13:14–14:23). Bwe yavaayo Abayudaaya abakkiriza ne bajja, ne batandika okuyigiriza mu Makanisa g’omu Ggalatiya nti abo bonna abakkiriza Yesu Kristo basaana bagoberere obulombolombo obw’omu ddiini y’Ekiyudaaya, era bakwate amateeka ga Musa balyoke balokolebwe. Pawulo yawandiika ebbaluwa eno okulwanyisa enjigiriza eyo enkyamu, ng’alaga nga Ibulayimu eyaliwo emyaka 400 nga Musa amateeka tegannamuweebwa yalokolebwa lwa kukkiriza. Noolwekyo si kituufu okugamba nti amateeka gasobola okulokola omuntu, oba omukkiriza wa Kristo amateeka okumufuula ataliiko kamogo. Pawulo n’ayoleka bulungi nti okusonyiyibwa ebibi kuva mu kisa kya Katonda mwokka. N’amaliriza nga yeerwanako ng’akakasa nga bw’ali Omutume ddala, era n’ayigiriza ng’Omukristaayo bw’asaana okweyisanga.
Currently Selected:
Abaggalatiya Ennyanjula: EEEE
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.
Luganda Contemporary Bible
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.