Bible App logo
Search Icon

Abaefeso Ennyanjula

Ennyanjula
Pawulo Omutukuvu yawandiika ebbaluwa eno nga musibe e Ruumi wakati w’emyaka ad 58 ne 64. Kye yagenderera kwe kugumya n’okuzzaamu amaanyi abakkiriza abaali mu Asiya Entono (kaakano eyitibwa Butuluuki). Pawulo abayisaayisa mu byafaayo, ng’atandikira ku nteekateeka za Katonda ezikwata ku nsi yonna, n’atuuka ne mu biseera bya leero Katonda mw’alokolera abakkiriza Kristo, bw’atyo n’ayigiriza ne ku biseera eby’omu maaso, ebigenda okujja, ng’olwo omulabe Setaani awanguddwa. Annyonnyola nti mu biseera bino wajja kubaawo okulwanagana okw’amaanyi ne Setaani (6:12). Kyokka olwokubanga tuli mubiri gwa Kristo, atuwa amaanyi agatumala okweteekerateekera omulabe oyo. Pawulo n’alyoka ayigiriza ku ebyo ebikwata ku mbeera y’Omukristaayo n’engeri gy’asaana okweyisaamu buli lunaku. N’akoona ku bufumbo, n’empisa ennungi. Abuulirira abazadde, n’abaana abato era n’abaddu ng’abategeeza engeri Omukristaayo gy’asaana okutambulamu mu kkubo lino ery’Obukristaayo.

Currently Selected:

Abaefeso Ennyanjula: EEEE

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in